TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Ttimu y'eggwanga ey'omupiira ey'abakazi eyingidde enkambi

Ttimu y'eggwanga ey'omupiira ey'abakazi eyingidde enkambi

By Stephen Mayamba

Added 5th November 2019

Ttiimu y'eggwanga eya Crested Cranes eyingidde enkambi okwetegegera empaka za CECAFA

Crestedwebnew 703x422

; Bridget Namitala (ku kkono), Zaina Namuleme, Phiona Nabbumba, Aisha Namukisa ne Hasifa Nasuuna mu kutendekebwa kwa Crested Cranes okwasembyeyo e Lugogo ku Mande nga tebanayingira nkambi.

CRESTED Cranes ttiimu y’eggwanga ey’omupiira ey’abakazi, eyingidde enkambi okwongera okwetegekera empaka z’amawanga g’obuvanjuba n’amasekkati ga Afrika.

Ku Mmande, omutendesi Farida Bulega, yalangiridde abazannyi 27 abagenda okutandika okwetegera CECAFA Women Challenge Cup 2019 , ez’okubeera mu kibuga Dar es Salaam e Tanzania okuva nga November 14.

Amawanga munaana ge gakakasizza okwetaba mu mpaka z’omwaka guno, nga Uganda eri mu kibinja B ne Kenya, Ethiopia ssaako Djibouti. Abategesi aba Tanzania era nga be baziwangudde emirundi ebiri egiyise (2016 ne 2018) bali mu kibinja A omuli Burundi, Zanzibar ne South Sudan.

Abazannyi abagenze mu nkambi;

Baggoolokipa; Ruth Aturo, Irene Paska Akiteng ne Daisy Nakaziro

Abalala kuliko; Viola Namuddu, Shadia Nankya, Bridget Nabisaalu, Marion Amangat, Stella Musubika, Eunice Ariokot, Grace Aluka, Aisha Namukisa, Asia Nakibuuka, Harriet Nakkuba,  Phiona Nabumba, Amina Nababi, Fauzia Najjemba, Hasifa Nassuna, Juliet Nalukenge, Margret Kunihira, Rashidah Nankya, Resty Nanziri, Zainah Namuleme ne Shamirah Nalugya.

 

 

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bug1 220x290

Paasita Bugembe naye endiga ze...

Paasita Bugembe naye endiga ze tazisuuliridde

Kag1 220x290

Ekizibu kya corona kisaza abantu...

Ekizibu kya corona kisaza abantu entotto

Kit1 220x290

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast...

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast ekanze abawagizi be

Acfc67552a0b422590ccdbe84492c45a 220x290

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda...

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda okulima

Kat18 220x290

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde...

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde abamu ‘essanyu’