TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Omutendesi wa Katwe United omuggya alaajanye

Omutendesi wa Katwe United omuggya alaajanye

By Gerald Kikulwe

Added 5th November 2019

Allan Kabonge, omutendesi wa Katwe United omuggya,ayagala bazannyi abanaamuwanguza Big League

Katweweb 703x422

Allan Tebusweke (wakati) owa Katwe, ng'attunka ne Patrick Matovu (ku kkono) ne Joshua Okwaput aba Light SS FC

 

MYDA     2-0 Katwe United

Kataka    1-1 Kiboga Young

Light SS  0-1 Bukedea T/C

Kitara     1-1 Ndejje University

Water    1-0 Dove FC

Kigezi Home Boys 1-0 New Villa

OMUTENDESI wa Katwe omuggya, Allan Kabonge, asabye bakama be okumugulira abazannyi abalala okuggumiza ttiimu kuba  gy’alina tesobola kuvuganya mu liigi.

Kabonge yeegatta ku Katwe wiiki ewedde ng’adda mu kifo kya Hassan Mubiru, wabula emipiira ebiri gye yaakabeera mu mitambo gya ttiimu talinamu buwanguzi wadde amaliri. Ku Lwokuna lwa wiiki ewedde yakubwa Bukedea T/C (2-1) ate ne ku wiikendi MYDA okuva e Tororo yamuwangudde 2-0.

“Nneetaaga okwongera mu ttiimu abazannyi abalala munaana kuba abaliwo tebasobola kuteekawo kuvuganya kumala,” Kabonge bwe yategeezezza.

Katwe y’eddiridde asembye mu kibinja kya Elgon n’obubonero 4.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Col2 220x290

Bebe Cool awadde abavubuka b'e...

Bebe Cool awadde abavubuka b'e Gomba obukadde 53 ez'okweggya mu bwavu

Set1 220x290

Rema yagambye nti buli mukazi yenna...

Rema yagambye nti buli mukazi yenna yetaaga kubeera n'omusajja gw'ayita omwami we ebyaddala

Ssematimba1 220x290

Peter Ssematimba atudde ebigezo...

Omubaka wa Busiro South Paasita Peter Sematimba atandise okukola ebigezo bye ebya S6 ku ssomero lya Minister JC...

Zab1 220x290

Muzaata alabudde abasajja abakandaaliriza...

Muzaata alabudde abasajja abakandaaliriza abakazi; Tujja kubabaggyako tubawe abeesobola

Nam1 220x290

Laba engeri Rema gye yafaananye...

Laba engeri Rema gye yafaananye nga Malaika ng'ayanjula Hamza