TOP

Ensonga 4 ezaakubizza KCCA mu za Afrika

By Musasi wa Bukedde

Added 6th November 2019

KCCA FC yasubiddwa okugenda mu bibinja by’empaka za kiraabu empanguzi mu Afrika, omulundi ogwokusatu ogw’omuddirihhanwa. Yawuttuddwa Paradou AC (Algeria) ggoolo 4-1.

Uni 703x422

Musa Ramathan ng'abuuse omuzannyi wa Paradou mu gwasooka e Lugogo.

Paradou AC 4-1 KCCA

Mu gwasooka e Lugogo, baagwa maliri (0-0). Mu liigi y'e Algeria, Paradou y’esembye nga mu mipiira musanvu erina wiini 2, eteebye ggoolo 3 ne bagiteeba 7.

Okugenda mu CAF Confederations Cup, KCCA yasooka kuwandulwa Petro de Luanda (Angola) mu CAF Champions League, sso ng'omwaka oguwedde yawandulwa Otoho d'Oyo (Congo Brazzaville).

Nga bakubwa Paradou, abazannyi ba KCCA baalaze nti bakyabulamu nnyo okuvuganya mu kikopo kino kuba obwedda balinga abatalina sisitiimu kwe bazannyira, nga n’oluusi omupiira gubatuukako nga tebamanyi kyakugukozesa!

Olw’okuba KCCA erudde mu kikopo kino, yabadde esuubirwa okukaluba nga ne bwe baba bagiwangudde, tebagikubye lukunkumuli lwa ggoolo.

Yasubiddwa obukadde 990 CAF z'ewa buli ttiimu egenze mu bibinja, okwongera okwetegeka.

EBIMU KU BYAKUBIZZA KCCA OKUTUNDA ABAZANNYI

Bwe weggyako abazannyi abalina obumanyirivu ne weesigama ku bato, kitegeeza nti eby’okukola obulungi mu mpaka nga zino osooka n'obivaako n'osooka ozimba ttiimu.

KCCA yeggyako, Allan Kyambadde, Patrick Kaddu, ne Timothy Awany n'ebasikiza Sadat Anaku, Herbert Achai, Musa Ramathan, Samuel Kato, Eric Senjobe, abatalina bumanyirivu mu mpaka zino.

ENTEEKATEEKA EMBI

Nga bamaze okutunda basiniya, Mike Mutebi, omutendesi, yayingira akatale okugula abazannyi kyokka yakikola kikeerezi ate ne be yagula kizibu okubeesigamako.

Kuliko; John Revita, Erisa Sekisambu, Simon Serunkuuma, Omunigeria John Egbuonu Odumegwu ne Kezironi Kizito.

Serunkuuma yekka ye yazannye, naye yabadde ng'atuusa oluwalo kuba 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Cap1 220x290

AbaKulembeze mu kalungu batuuzizza...

AbaKulembeze mu kalungu batuuzizza olukiiko okutema empenda z'okulwanyisa COVID-19

Pop13 220x290

Poliisi etandise okunoonyereza...

Poliisi etandise okunoonyereza ku musirikale waayo eyakubye abaana be amasasi

Kafeera 220x290

Leero luno!

NG’ENSI eri ku bunkenke bw’ekirwadde kya Coronavirus, abamu ku Bannayuganda batandise okubiteekamu omuzannyo bo...

Gaali 220x290

Ono booda agiyita mmotoka?

ONO taata w’abaana ekiragiro kya Pulezidenti eky’emmotoka eza buyonjo okutikka abantu basatu yakifunye bulala....

Bitone2 220x290

Nze sijja kuyimba kambawe akatono...

NG’ABAYIMBI beeyiwa mu situdiyo okukola ennyimba ezikwata ku kirwadde ku Coronavirus n’okukubiriza abantu okugoberera...