TOP
  • Home
  • Ebyemizannyo
  • KCCFC yesasulizza ku Police oluvannyuma lw'okuwanduka mu za CAF

KCCFC yesasulizza ku Police oluvannyuma lw'okuwanduka mu za CAF

By Silvano Kibuuka

Added 10th November 2019

KCCFC yesasulizza ku Police oluvannyuma lw'okuwanduka mu za CAF

Kit2 703x422

Ebibadde mu Liigi ya Super:

Lwamukaaga:

BUL 3-0 Mbarara City

KCCA FC 3-2 Police

Soana 1-1 Proline FC

Bright Stars 0-1 SC Villa

KCCA FC oluwanduse mu mpaka za Africa ez’okusunsula abanaazannya ebibinja bya Champions League obusungu ebuzzizza ku Police FC gy’ekubye ggoolo 3-2 ku kisaawe kya Star Times e Lugogo.

Abawagizi, abakungu n’abatendesi ba KCCA basoose kunnyogoga Police bw’esoose okugikulembera 2-0 eziteebeddwa Ben Ocen ne Pius Kaggwa wabula Jackson Nunda n’akkakanya embera bwe yateebedde KCCA esooka ne guwummula nga bali 2-1.

Mu kitundu eykyokubiri Nunda yateebye eyokubiri ate Erisa Sekisambu eyasikidde Mike Mutyaba n’ateeba eyokusatu abawagizi ne bajaganya.

Wabula Nunda yasubizza KCCA eyandibadde ggoolo eyokuna bwe yalemeddwa okuteeba peneti kwe yabadde anoonyeza ggolo ssatu okutwala omupiira gwe baabadde basamba okusinziira ku kalombolombo ka FIFA.

Omukwasi wa ggoolo ya Police FC Davis Mutebi yamuzize w’agenda okukuba n’agukwata.

Obuwanguzi butadde BUL mu kyokubiri ku kimeeza kya liigi ku bubonero 27 mu mipiira 13, SC Villa mu kyokusatu ku bubonero 23 mu mipiira 12 ne KCCA mu kyomukaaga ku bubonero 18 mu mipiira munaana.

Proline ekyakoobedde ku kimeeza n’akabonero kamu mu mipiira mwenda, Police n’eddako ku bubonero butaano mu mipiira 12 ne Bright Stars n’eddako ku bubonero 10 mu mipiira 13

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Know 220x290

Baze yanjiira asidi lwa kumugaana...

OBUTABANGUKO mu maka kimu ku bizibu ebiyuuya obufumbo mu ggwanga. Abakazi be basinga okukosembwa embeera eno era...

Laga1 220x290

Bwe nnafuna olubuto lw'abalongo...

NZE Ritah Byeganje, 25, ndi mutuuze mu Katoogo zooni mu muluka gwa Bwaise III e Kawempe. Nasinsinkana ne muganzi...

Yamba 220x290

Baze bwe yayingirira eby'okusamize...

EBIKOLWA by’okusamira n’okukozesa ebyawongo kimu ku bivuddeko obufumbo bw’ensangi zino okutabanguka.

Abakungubanrmmuofiisiyacaojamesnkataabaakulembeddwardcfredbamwineasookakuddyowebuse 220x290

RDC w’e Mukono akulembeddemu kaweefube...

Abakulembeze e Mukono bavuddeyo ku byobugagga bya disitulikiti y'e Mukono ebigambibwa okutundibwa

Abazaddenabongabavuganyamumpakazokuddukanolondaakapapulaobweddaobulimuebiraboebyenjawulowebuse 220x290

Abazadde bawangulidde abaana baabwe...

Omukulu w'essomero akakoze bw'addizza abazadde ebirabo n'abaleka nga bamutenda omwoyo gw'okuddiza