TOP
  • Home
  • Rally
  • Blick afunzizza engule y'ezaakafubutuko

Blick afunzizza engule y'ezaakafubutuko

By Nicholas Kalyango

Added 11th November 2019

Blick kati abuzaayo empaka za mirundi 2 (Kapeeka ne Boxing day)okulangirirwa nga kyampiyoni w'ezaakafubutuko.

Buloba1 703x422

Emmotoka ya Blick (ku kkono) ng'abisanya ne Hassan Alwi eyawangudde e Buloba.

Bwe baakoze e Buloba

H. Alwi/ S. Kyambadde 0:03:39.70

A. Blick/ G. Ssemakula   0:03:45.70

E. Mungyereza/ R. Sirwomu   0:03:51.90

Engule y’ezaakafubutuko bw’eyimiridde

Arthur Blick            87

Hassan Alwi            66

Ronald Ssebuguzi   55

Jas Mangat              55

OLUMALIRIZZA engule y’ezaakafubutuko, kafulu wa mmotoka z’empaka Arthur Blick Jr, obwanga obukyusizza kati abautadde ku ngule ya ggwanga eya National Rally Championship (NRC).

“Obubonero buno bunyambye okunyweza engule yange esoose omwaka guno wabula sigenda kusirika ne mu zaakafubutuko ezisembayo ku nnina okulwana n’omusomi wa maapu wange (George Ssemakula) awangule waakiri engule yaakafubutuko mu basomi ba maapu,” Blick bwe yagambye.

Yayongeddeko nti, “Empaka zino zituyambye okulaba kwetubulamu nga twetegekera ezigalawo kalenda ya NRC ezigenda okubeera e Kapeeka. Engule ya NRC nayo ngyetaaga era ngenda kulwana ngitwale.”

 mmotoka ya lick ngedduka u katono ye lick Emmotoka ya Blick ng'edduka. Mu katono ye Blick.

 

Blick yamalidde mu kyakubiri mu mpaka za ‘FMU Forest Park Sprint 2’ ezaabadde e Buloba ku Ssande. Yafunidde obubonero 15 nga buno bwe yagasse ku 72 bw’abadde nabwo. Mu kibalo, wadde Hassan Alwi yawangudde e Buloba n’aweza obubonero 66, ne bw’anaawangula ezibulayo (Alwi), abeera agenda ku bubonero 86 nga tayisa Blick.

Mu basomi ba maapu, Ssemakula (asomera Blick) akulembedde n’obubonero 70 wabula ng’akyeetaaga okuwangula empaka eziddako kuba asinga Siraje Kyambadde (asomera Alwi) akabonero kamu kokka.

Abavuzi ba mmotoka, bakomawo mu nsiike ku wiikendi ya November 29 – December 1 bwe banaaba balwanira obubonero ku zigalawo kalenda ya NRC. Yassin Nasser ne Arthur Blick be bokka abasigaza obukisa oguwangula engule eno nga Nasser akulembedde n’obubonero 415 ate Blick ali mu kyakubiri n’obubonero 385.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mknmu21 220x290

Ababadde batwala omulambo batuuyanye...

Abatuuze ku kyalo Nassuuti mu munisipaaali y’e Mukono baasitaanye okufuna ebiwandiiko ebitambuza omulambo gwa munnaabwe...

1bc8d9398e5f4a07a3307fdfeb1d90ad 220x290

Kasujja omukulu w'ekika ky'Engeye...

OMUTAKA Hajj Mohamood Minge Kibirige Kasujja abadde akulira ekika ky’engeye obulwadde bwa sukaali ne puleesa bimugye...

Mkncov11 220x290

Ab’e Mukono batandise ekifo aw’okukuumira...

Ab’e Mukono batandise ekifo aw’okukuumira abateeberezebwa okuba ne Coronavirus

414009d1dd2349e0bd6b4678886a42d21 220x290

Kabaka awaddeyo obukadde 100 okuyamba...

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II addukiridde Bannayuganda n’obuyambi obw’enjawulo obubalirirwa obukadde 100 ng’ensimbi...

Lop2 220x290

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye...

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye Bannayuganda okubeera abaweereza abalungi