TOP
  • Home
  • Rally
  • Mbarara City ekutte Nkata ku nkoona

Mbarara City ekutte Nkata ku nkoona

By Ismail Mulangwa

Added 11th November 2019

Brian Ssenyondo akomezeddwawo okutwala Mbarara City mu maaso oluvannyuma lw'okukwata Nkata ku nkoona.

Nkata1 703x422

Nkata

ATAKULABA y’akugaya olugero luno lutuukira ddala ku Paul Nkata eyafumuddwa kiraabu ya Mbarara City oluvannyuma lw’okukubwa BUL FC ggoolo 3-0 ku Lwomukaaga.

Nkata yawebwa ogw’obutendesi bwa Mbarara City mu September w’omwaka guno ng’asikira Brian Ssenyondo eyali akola ng’omutendesi ow’ekiseera. Nkata y’omu ku batendesi abeekolera erinnya bwe yawangulira URA ekikopo kya Kakungulu Cup mu sizoni ya 2013/14. Oluvannyuma yawangulira Tuskey ekikopo kya liigi mu sizoni ya 2015/16.

 tiimu ya barara ity tiimu ya Mbarara City.

Nkata abadde yakatendeka emipiira musanvu ng’awanguddeko gumu gwokka (Busoga United 2-1) e Luzira. Akubiddwa emipiira 4 n’amaliri ga mirundi 2 (URA ne Bright Stars).

 oakim jera ngayavuza omuzibizi wa barara ity Joakim Ojera ng'ayavuza omuzibizi wa Mbarara City

Ttiimu agirese mu kya 12 n’obubonero 10 okuva mu mipiira 12 sizoni eno ng’era bannyini ttiimu bakomezaawo Brian Ssenyondo okutwala kiraabu yaabwe. Enkya Lwakubiri, Mbarara City ekyaza Onduparaka e Kakyeka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Whatsappimage20191206at004506 220x290

Omunigeria Wizkid afuukudde abadigize...

Abantu beeyiye ku Airstrip e Kololo mu kivvulu ky'Omunigeria Wizkid, mu kivvulu ekyatuumiddwa #DirtyDecember Ba...

Nicho 220x290

Amagye gasazeeko ffaamu ya taata...

AMAGYE ne poliisi basazeeko ffaamu ya taata wa Bobi Wine omugenzi Wellington Jackson Ssentamu e Gomba.

Sevo 220x290

Museveni ayongedde ggiya mu kulwanyisa...

PULEZIDENTI MUSEVENI ayongedde ggiya mu kulwanyisa abali b’enguzi era n’awa amagezi abawa abantu emirimu mu bitongole...

Ppp2 220x290

Abantu 20 be bafa obulwadde bw'akafuba...

Bebe Cool akoowoodde Bannayuganda okumwegattako mu kulwanyisa obulwadde bw’akafuba emu ku ndwadde zi nnamutta mu...

Ucumussanyu9214 220x290

UCU Lady Canons ewangudde n'edda...

JKL Dolphins yeetaaga kuwangula nzannya bbiri ku UCU Lady Canons okusitukira mu kikopo kya sizoni eno.