TOP

Mourinho akoonye Guardiola

By Musasi wa Bukedde

Added 12th November 2019

Akakuku ka Jose Mourinho ne Pep Guardiola tekasuubirwa kuggwaawo.

Lumba 703x422

Mourinho ne Pep

Ng’ayogera ku buwanguzi bwa Liverpool ku Man City obwabaddewo ku Ssande, Mourinho yakoonye Guardiola nti, “Man City nnungi nnyo okuwolomera wiiki ennamba!

Mu kifo ky’okukaabira ebintu ebyawedde amaanyi agateeke ku kugolola ensobi ezaavuddemu ggoolo,” Mourinho bwe yategeezezza ku ttivvi ya Sky.

Yagambye nti ttiimu yonna etekuuma butiribiri Mane, Salah ne Firmino, egwa ku kyokya nga ye nsonga lwaki buli lwe yagisisinkananga yalagiranga abazibizi be obuteesuula bbanga.

Yagasseeko nti Man City yeemalidde nnyo mu kulumba ne yeerabira amaanyi ga Liverpool we gasinga. “De Bruyne ne Gundogan bannemye okutegeera gye baabadde ku ggoolo ya Fabinho,” bwe yalambuludde.

Liverpool yawangudde (3-1) ne ggoolo za Fabinho, Salah ne Mane ne yeenywereza ku ntikko ya Premier. Erina obubonero 34, Leicester ne Chelsea 28, Man City 25, Arsenal 17 ne ManU 16

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lip1 220x290

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi...

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi

Tap11 220x290

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera...

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera

Gab1 220x290

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga...

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga

Hat13 220x290

Omuliro guzizza abasuubuzi emabega...

Omuliro guzizza abasuubuzi emabega

Tum1 220x290

Ab’e Lwengo basattira lwa bubbi...

Ab’e Lwengo basattira lwa bubbi bw’ebisolo n’emmere