TOP

Ronaldo ne Sarri batabuse

By Musasi wa Bukedde

Added 12th November 2019

Wazzeewo obutakwatagana wakati wa Cristiano Ronaldo n’omutendesi wa Juventus, Maurizio Sarri.

Papa 703x422

Entabwe eva ku Sarri okukola sabusityuti ku Ronaldo mu mipiira 2 egiddiring’ana. Nga bawangula AC Milan (1-0) ku Ssande, Ronaldo yaggyiddwaamu n’asikirwa Paolo Dybala era yagenze butereevu mu kasenge mu kifo ky’okutuula ku bbenci ng’empisa bw’eri.

Nga bazannya Lokomotiv Moscow mu Champions League ku Lwokubiri, Ronaldo era yaggyibwa mu kisaawe, wabula Sarri n’ategeeza nti amwewaza kufuna buvune obwandimusubizza ensiike ya AC Milan.

Abantu balinze okulaba oba Sarri anaabonereza Ronaldo olw’obutassa kitiibwa mu banne abagumira okutuula ku katebe. Bangi baawagidde Sarri nti Ronaldo yabadde ‘mufu’ ate nga Dybala ye yateebye ggoolo ey’obuwanguzi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mot1 220x290

Ababbi babbye nnamba za mmotoka...

Ababbi babbye nnamba za mmotoka e Kyengera ne basaba ssente

Lab1 220x290

GAVANA alabudde abayuza n'okuwandiika...

GAVANA alabudde abayuza n'okuwandiika ku ssente

Lop1 220x290

Minisita ayagala KCCA esse obukwakulizo...

Minisita ayagala KCCA esse obukwakulizo obupya ku baagala okuzimba ebizimbe mu Kampala

Funayo 220x290

Attottodde engeri omuzigu gye yatemye...

OMUKAZI Florence Nannyombi ‘omutujju’ gwe yasikambuddeko omwana we Amos Sekanza ow’emyaka omusanvu n’amutemako...

Gata1 220x290

Omusajja atemyeko abantu 4 emitwe...

OMUSAJJA bwe yatemyeko obulago abantu bana, baasoose kumuyita mulalu. Azzeeyo ku kyalo n’atemako emitwe abalala...