TOP

Sterling azzeemu okugwa Gomez mu malaka

By Musasi wa Bukedde

Added 12th November 2019

Omutendesi wa Bungereza, Gareth Southgate aggye Raheem Sterling mu ttiimu ye enettunka ne Montenegro ku Lwokuna lwa kugezaako kutuga Joe Gomez, gwe yabaddeko n’ekiruyi olwa Liverpool okukuba ttiimu ye (Man City) ku Ssande.

208851827674439imagea511573515938210 703x422

Sterling agambibwa nti yasuze n’obusungu nga Liverpool ebawangudde era olwalabye ku Gomez nga bombi bagenze mu kutendekebwa kwa Bungereza ku Mmande, n’amugwa mu malaka.

Bungereza yaakuttunka ne Montenegro mu gusunsula abalyetaba mu mpaka za Bulaaya omwaka ogujja (Euro 2020) era Southgate olwategedde ensonga zino, n’agambirawo nti, “Siyinza kuzannyisa mawale”.

Sterling 24, yeetondedde Gomez n’aboomupiira bonna n’agamba nti bamusonyiwe kuba mu mupiira ebyo byonna bibeeramu naye obusungu bwajjidde mu butikitiki butono ate n’akyejjusa nga kati asaba bagende mu maaso n’okunyumirwa omupiira.

Sterling yava mu Liverpool okwesogga Man City era ensiike y’oku Ssande yagimazeeko abawagizi ba Liverpool bamuvuma n’okumung’oola. Liverpool ekulembedde Premier, esinga Man City obubonero 9.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tip11 220x290

Laba engeri gy'osobola okufuna...

Laba engeri gy'osobola okufuna emitwalo 16 buli lunaku mu buti obukuma essigiri

Dad1 220x290

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde...

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde abato mu Toto Xmas Festival e Nmboole

Lip1 220x290

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi...

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi

Tap11 220x290

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera...

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera

Gab1 220x290

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga...

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga