TOP

ManCity enoonya bassita abalala okwenyweza

By Musasi wa Bukedde

Added 12th November 2019

OKUWANGULWA obubi Liverpool n’ebaleka obubonero 9, kizuukusizza abagagga ba Man City ne balagira omutendesi Pep Guardiola ayigge bassita basatu abazza ttiimu eno ku mutindo esigaze ekikopo kya Premier.

Thumbnailpepkissesaguero 703x422

Liverpool yawangudde ggoolo 3-1 aba Man City ne bazuula nga yali nsobi obutafuna basika ba kapiteeni Vincent Kompany, David Silva n’omuteebi Kun Aguero.

Kompany yagenda mu Anderlecht, Silva akuliridde era akoma sizoni eno okuzannyira Man City, sso nga Aguero talina muteebi mulungi aziba ddibu lye omupiira bwe guba gumufiiriridde oba ng’alwadde.

Kigambibwa nti abagagga ba Man City bataddewo pawundi obukadde 100 okuwa Guardiola agule bassita basatu mu katale ka January.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mot1 220x290

Ababbi babbye nnamba za mmotoka...

Ababbi babbye nnamba za mmotoka e Kyengera ne basaba ssente

Lab1 220x290

GAVANA alabudde abayuza n'okuwandiika...

GAVANA alabudde abayuza n'okuwandiika ku ssente

Lop1 220x290

Minisita ayagala KCCA esse obukwakulizo...

Minisita ayagala KCCA esse obukwakulizo obupya ku baagala okuzimba ebizimbe mu Kampala

Funayo 220x290

Attottodde engeri omuzigu gye yatemye...

OMUKAZI Florence Nannyombi ‘omutujju’ gwe yasikambuddeko omwana we Amos Sekanza ow’emyaka omusanvu n’amutemako...

Gata1 220x290

Omusajja atemyeko abantu 4 emitwe...

OMUSAJJA bwe yatemyeko obulago abantu bana, baasoose kumuyita mulalu. Azzeeyo ku kyalo n’atemako emitwe abalala...