TOP
  • Home
  • Akadirisa
  • Bassita ba Bungereza banenyezza Southgate okugoba Sterling ku y'eggwanga

Bassita ba Bungereza banenyezza Southgate okugoba Sterling ku y'eggwanga

By Musasi wa Bukedde

Added 12th November 2019

EKIKOLWA ky’omutendesi wa Bungereza, Gareth Southgate okuggya Raheem Sterling mu ttiimu egenda okuttunka ne Montenegro ku Lwokuna kinyiizizza bassita baayo nga bagamba nti yapapidde akasongasonga.

Toko 703x422

Sterling

EKIKOLWA ky’omutendesi wa Bungereza, Gareth Southgate okuggya Raheem Sterling mu ttiimu egenda okuttunka ne Montenegro ku Lwokuna kinyiizizza bassita baayo nga bagamba nti yapapidde akasongasonga.

Southgate yawanduukuludde Sterling olw’okukwata muzannyi munne, Joe Gomez amataayi nga basisinkanye mu kutendekebwa kw’oku Mmande.

Sterling owa Man City, yabadde akyaliko obusungu bwa Liverpool okubawangula (3-1) ku Ssande era nga mu nsiike eyo, ye ne Gomez waliwo lwe baali babulako akatono okwegwa mu malaka.

Jordan Henderson, kapiteeni wa Liverpool ate nga yaliko owa Bungereza, y’omu ku baayise ensonga za Sterling ‘akasongasonga’ nga yagenze kipayoppayo eri abazannyi bombi okubatabaganya.

Sterling naye yeetondedde Gomez nti obusungu bwe bwamukozezza atyo kyokka nti bino bibaawo bulijjo mu mupiira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

6 220x290

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu...

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu

Omumyuka 220x290

Pulezidenti Museveni teyeeyibaala...

OMUBAKA wa Busiro East mu palamenti, Medard Lubega Sseggona ategeezezza Pulezidenti Museveni nti teyeeyibaala nti,...

Kutte1 220x290

Nakibinge akunyizza Haruna Kitooke...

JJAJJA w’Obusiraamu, Omulangira Kassim Nakibinge, Omulangira Kakungulu Kalifaani, Sheikh Nuuhu Muzaata ne bamaseeka...

And 220x290

Tondaba akanyiriro embeera mbi...

HARUNA alombojjedde Sipapa ebizibu by’ensimbi byatubiddemu olw’okwenyigira mu by’obufuzi.

7900135314007387300859518542802200714280960n 220x290

Gravity Omutujju amaze n’alaga...

KYADDAAKI Gravity Omutujju alaze mukyala we mu lujjudde n’ategeeza nga bwe bagenda okwanjula mu January wa 2020...