TOP

Golola asiimye omutindo gw'abazannyi be

By Ismail Mulangwa

Added 13th November 2019

Golola atunuulidde kuwangula liigi sizoni eno olw’omutindo ogw’enjawulo gwataddewo ng’omutendesi wa Vipers eyasemba okuwangula ekikopo kino mu sizoni ya 2017/18 wansi w’omutendesi Miguel Da Costa.

Vipersxxxx 703x422

Bashir Asiku (ku kkono) owa Vipers ng'attunka ne Shafiq Kagimu (ku ddyo) owa URA.

OMUTENDESI wa Vipers Edward Golola atenderezza omutindo abazannyi be gwe bayolesezza nga bamegga batabani ba Sam Simbwa aba URA eggulo (Lwakubiri) mu liigi ya Startimes e Kitende. Vipers yeenywerezza ntikko ya liigi’ekimeza.

Vipers y’ekulembedde liigi n’obubonero 33 okuva mu mipiira 13 nga bukyanga sizoni eno etandika, tebannakubwamu mupiira gwa liigi ng’oggyeeko amaliri ga Onduparaka, SC Villa ne Mbarara City.

 olola    Golola

Golola atunuulidde kuwangula liigi sizoni eno olw’omutindo ogw’enjawulo gwataddewo ng’omutendesi wa Vipers eyasemba okuwangula ekikopo kino mu sizoni ya 2017/18 wansi w’omutendesi Miguel Da Costa.

Ku Lwomukaaga bakyalira bannantameggwa ba liigi aba KCCA e Lugogo mu mupiira ogw’obugoombe kuba ttiimu zonna zeetaaga obubonero naddala KCCA eyaakazannya emipiira emitono.

KCCA egenda kusubwa bassita baayo; Allan Okello, Nicholas Kasozi ne Charles Lukwago abali ne ttiimu y’eggwanga nga yeetegekera omupiira gwa Malawi ku Ssande so nga Vipers yaakusubwa omuteebi Fahad Bayo ne Halid Lwalilwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Whatsappimage20191213at212901copy 220x290

Balaze waaka ku mpaka z'emisono...

Balaze waaka ku mukolo gw'okwolesa emisono ogwategekeddwa Abraynz ku Serena Hotel mu Kampala

Steelandtubebyjmutebi2 220x290

'Abakozi mukomye okwemulugunya'...

FAAZA Raymond Kalanzi ow’e kiggo ky’e Kiwamirembe alabudde abakozi abasiiba ku mirimu yonna gye bali nga beemulugunya...

Fanda1 220x290

Eyasuulawo mukyala we emyaka 25...

SSEMAKA eyasuulawo mukyala we ng’afunye omulala akomyewo oluvannyuma lw’emyaka 25 n’amukuba empeta.

Bba 220x290

Kkamera ziraze eyabbye emmotoka...

KKAMERA za poliisi zikutte omusajja omulala ng’abba emmotoka eyabadde esimbiddwa okumpi n’eddwaaliro ly’e Mulago....

Tamalemirundi 220x290

Tamale Mirundi agobye abamulambula...

Mikwano gya Tamale Mirundi betwayogeddeko nabo baategeezezza nti obulwadde Tamale bwamwetamizza abantu era mu bamu...