TOP

KCCA efukamizza Express

By Nicholas Kalyango

Added 13th November 2019

KCCA FC esuzze mu kyamwenda oluvannyuma lw'okumegga Express ku ggoolo 3-1.

Expresskcca6 703x422

Disan Galiwango owa Express Fc (wakati) ng'alwanira omupiira ne Erisa Sekisambu (ku kkono) ne Filbert Obenchan aba KCCA FC.

Express 1-3 KCCA

Police 4-0 Tooro Utd

Villa 1-1 BUL

Ggoolo ya Sadat Anaku, Mike Mutyaba ne Muhammed Yiga (eya kyeteeba) ze ziyambye KCCA okufukamizza Express ku ggoolo 3-1 mu mupiira gwa liigi ogubadde e Wakiso ku Kyabagu Stadium.

Oluvannyuma lw’okulumbibwa ennyo, Frank Kalanda yafunidde Express ggoolo eyabayambye obutava Wakiso ngalonsa. Ggoolo eno ebadde ya peneti eyaleteeddwa Filbert Obenchan eyatemulidde Joseph Sennyondo mu ntabwe ya KCCA.

Obuwanguzi buno, busitudde KCCA ne bugitwala mu kyokutaano ku bubonero 19 okuva mu mipiira 9. Mu mipiira emirala, Police awatali mutendesi waayo Abdallah Mubiru, ekubye Tooro United ggoolo 4-0 ezigiyambye okuweza obubonero 8.

Mubiru ali ne Cranes gy’akola ng’omumyuka wa Johnathan McKinstry nga leero John Luyinda yaabadde ku katebe ng’omutendesi wa Police. Andrew Samson Kigozi (ggoolo 2), Ben Ocen ne Musa Matovu be bateebedde Police.

SC Villa eremaganye ne BUL ggoolo 1-1. Richard Wandyaka ye yasoose okufunira BUL ggoolo mu ddakiika y’e 74 wabula wayise eddakiika 2 zokka, David Owori n’afunira Villa ey’ekyenkanyi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Whatsappimage20191213at212901copy 220x290

Balaze waaka ku mpaka z'emisono...

Balaze waaka ku mukolo gw'okwolesa emisono ogwategekeddwa Abraynz ku Serena Hotel mu Kampala

Steelandtubebyjmutebi2 220x290

'Abakozi mukomye okwemulugunya'...

FAAZA Raymond Kalanzi ow’e kiggo ky’e Kiwamirembe alabudde abakozi abasiiba ku mirimu yonna gye bali nga beemulugunya...

Fanda1 220x290

Eyasuulawo mukyala we emyaka 25...

SSEMAKA eyasuulawo mukyala we ng’afunye omulala akomyewo oluvannyuma lw’emyaka 25 n’amukuba empeta.

Bba 220x290

Kkamera ziraze eyabbye emmotoka...

KKAMERA za poliisi zikutte omusajja omulala ng’abba emmotoka eyabadde esimbiddwa okumpi n’eddwaaliro ly’e Mulago....

Tamalemirundi 220x290

Tamale Mirundi agobye abamulambula...

Mikwano gya Tamale Mirundi betwayogeddeko nabo baategeezezza nti obulwadde Tamale bwamwetamizza abantu era mu bamu...