TOP

CHILE EGOBYE ABAZANNYI

By Musasi wa Bukedde

Added 14th November 2019

EKIBIINA ekifuga omupiira mu Chile kigobye abazannyi 20 mu nkambi lwa kuwagira bannansi abeekalakaasa nga baagala Pulezidenti w’eggwanga eryo ave mu ntebe.

Chile1 703x422

Ttiimu ya Chile eyatwala Copa America.

EKIBIINA ekifuga omupiira mu Chile kigobye abazannyi 20 mu nkambi lwa kuwagira bannansi abeekalakaasa nga baagala Pulezidenti w’eggwanga eryo ave mu ntebe.

Abazannyi bano okuli ne bassita, kapiteeni Claudio Bravo (Man City) ne Arturo Vidal owa Barcelona, baagaanyi okuzannya omupiira ogw’omukwano ogubadde gutegekeddwa ne Peru mu kibuga ekikulu Lima (ekya Peru).

 idal Vidal

 

Bannansi ba Chile bamaze wiiki ssatu nga beekalakaasa nga baagala Pulezidenti waabwe, Sebastien Pinera alekulire olw’okulinnyirira eddembe ly’obuntu.

Abantu 23 bafiiriddemu ate abasoba mu 2000 ne bafuna ebisago eby’amaanyi.

Chile yasazizzaamu omupiira ogw’omukwano gwe yabadde ekyalizaamu Bolivia e Santiago nga ku Mmande ebadde yaakukyalira Peru. Abazannyi bonna abaayitibwa babadde bazannyira bweru wa Chile era ekiwandiiko ky’ekibiina ekifuga omupiira kyagambye nti baalagiddwa okudda mu kiraabu zaabwe kyokka tekyawadde nsonga yabagobezza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

A1 220x290

Ekyabadde mu ntujjo ya ‘Floral...

Ekyabadde mu ntujjo ya ‘Floral & Cocktail Party’ e Munyonyo ebyana gye byalagidde emisono n’emibiri nga bwe balya...

Afrigo 220x290

Lutalo ekintu akyekwatiddemu

OMUYIMBI w’ennyimba za laavu, David Lutalo (ku ddyo) kirabika akooye bapulomoota okumulyako ssente.

Tege 220x290

Kyokka mwana ggwe Lydia Jazmine!...

MWANAMUWALA Lydia Jazmine abamu gwe bayita muninkini wa gundi yamalayo. Akola bimusanyusa nga tafuddeyo ku bantu...

Kuba 220x290

Eyagaba abalongo bange yantamya...

NZE Charles Adwor, mbeera Mukono. Nasisinkana munnange mu 2014 nga nkyabeera e Jinja. Ebiseera ebyo nalina omulimu...

Melon1 220x290

Weyune enkola ya kontulakiti ofunemu...

OKUKOLA kontulakiti n’omuguzi y’emu ku ngeri omulimi n’omulunzi mw’asobola okuyita okufuna akatale k’ebintu bye...