Leero (Lwakuna) mu Big League
Ndejje University - Kansai Plascon
Paidha B.A - Doves All Stars
Bukedea T/C - MYDA
Savior - Kiboga Young
Kigezi Home Boys - Nyamityobora
TTIIMU ya Kansai Plascon, ezannyira mu Big League, ewonyezza Felix Ssekabuuza, akatebe bw’emuwadde ogw’obutendesi ku ndagaano ya myaka ebiri.
Ssekabuuza, eyazze mu bigere bya Angelo Lonyesi, abadde amaze omwaka mulamba nga talina mulimu okuva sizoni ewedde lwe yava mu Kiboga Young.
Leero ku Lwokuna, Plascon ekyalira Ndejje Universit, eyaakasalwako okuva mu ‘Super’ era omutendesi Ssekabuuza awera okwolesa bukugu okufunira bakama be obuwanguzi.
Obuwanguzi bwa Ndejje bugitwala ku ntikko y’ekibinja kya Rwenzori ate obwa Plascon bugiteeka mu bifo ebitaano ebisooka. UPDF yeekulembedde ekibinja kino n’obubinero 14, Kitara (13), Kigezi Home Boyz (13) Ndejje(12) ate Plascon (7) mu kyomukaaga.

“Omutindo gw’abazannyi si mubi, nneetaaga kwongeramu ebintu ebitonotono okunkolera kye njagala okusobola okwesogga ‘Super’ sizoni ejja,” Ssekabuuza bwe yategeezezza.
Raymond Komakech, atendeka Ndejje agamba nti ekitundu ekisooka kibakaluubiriddemu wabula kati beetegekera kyakubiri naye ogwa leero balina okuguwangula okudda ku ntikko.