TOP

KCCA FC ekubye Vipers awaluma

By Silvano Kibuuka

Added 16th November 2019

KCCA FC emezze Vipers SC egikyalidde e Lugogo ku kisaawe kya Star Times ku ggoolo 1-0 ng’eteebeddwa Muzamir Mutyaba.

Starleaguenov162019kccabtvipers10kizzaandwilla2 703x422

Mustafa Kizza owa KCCA (ku ddyo) ng'azibira Paul Willa owa Vipers mu liigi e Lugogo. KCCA yawangudde 1-0 Nov 16 2019. (ekif: Silvano Kibuuka)

Emipiira gye liigi ku Lwomukaaga:

KCCA FC 1-0 Vipers SC

BUL FC 0 – Proline FC

Maroons FC 2 – 2 Wakiso Giants

Tooro United 1 – 2 Express FC

Ggoolo enyweredde mu ddakiika eya 31 wakati mu kavuyo mu kisenge kya Vipers ng’omupiira gwekonye ku ku muzibizi wa Vipers Bashir Asiku ne gulemerera omukwasi wa Vipers Fabien Mutombora okukwata.

Obuwanguzi butadde KCCA mu kifo ekyokutaano ku bubonero 22 mu mipiira 10 wabula nga Vipers wadde ekubiddwa esigadde ku ntikko y’ekimeeza ku bubonero 33 mu mipiira 14.

Guno gwe mulundi gwa Vipers ogusoose okukubwa mu liigi eno.

BUL FC okugwa amaliri 0-0 ne Proline FC esembye mu kibinja kugisigazza mu kyokubiri n’obubonero 29 mu mipiira 15 so nga mukwano gwabaangi Express FC eraza emaanyi nga ye yokka ewangulidde ku bugenyi bw’ekubye Tooro United 2-1 e Fort Portal.

Enzannya za liigi ziddwamu Lwakubiri.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Whatsappimage20191206at004506 220x290

Omunigeria Wizkid afuukudde abadigize...

Abantu beeyiye ku Airstrip e Kololo mu kivvulu ky'Omunigeria Wizkid, mu kivvulu ekyatuumiddwa #DirtyDecember Ba...

Nicho 220x290

Amagye gasazeeko ffaamu ya taata...

AMAGYE ne poliisi basazeeko ffaamu ya taata wa Bobi Wine omugenzi Wellington Jackson Ssentamu e Gomba.

Sevo 220x290

Museveni ayongedde ggiya mu kulwanyisa...

PULEZIDENTI MUSEVENI ayongedde ggiya mu kulwanyisa abali b’enguzi era n’awa amagezi abawa abantu emirimu mu bitongole...

Ppp2 220x290

Abantu 20 be bafa obulwadde bw'akafuba...

Bebe Cool akoowoodde Bannayuganda okumwegattako mu kulwanyisa obulwadde bw’akafuba emu ku ndwadde zi nnamutta mu...

Ucumussanyu9214 220x290

UCU Lady Canons ewangudde n'edda...

JKL Dolphins yeetaaga kuwangula nzannya bbiri ku UCU Lady Canons okusitukira mu kikopo kya sizoni eno.