TOP

Uganda ekubye Malawi 2-0 n'ewaga

By Hussein Bukenya

Added 17th November 2019

MU Mupiira, waliwo enjogera egamba nti tewali buwanguzi bubi, wabula waliwo bw’otuuka ekiseera ng’olina okutunuulira omutindo gwa ttiimu efunye obuwanguzi.

Kabuzi1 703x422

Mu za Afrika

Cranes 2-0 Malawi

MU Mupiira, waliwo enjogera egamba nti tewali buwanguzi bubi, wabula waliwo bw’otuuka ekiseera ng’olina okutunuulira omutindo gwa ttiimu efunye obuwanguzi.

Cranes ekubye Malawi ggoolo 2-0 mu guzannyiddwa mu kisaawe e Namboole mu z’okusunsulamu abalizannay empaka za Afrika 2021 e Cameroon.

Emma Okwi ne Fahad Bayo be baateebye ggoolo zino mu ddakiika ya 29 ne 68. Obuwanguzi buno bwatadde Cranes mu kyokubiri ku bubonero 4 okwenkana Burkina Faso eyawangudde South Sudan omwayo Khartoum nayo (2-0).

Johnathan McKinstry atendeka Cranes yalonze ttiimu eyayawuseemu ku8 yazannya Burkina Faso bwe yalagidde Bevis Mugabi eyazannya nnamba 2 okudda mu kisenge wakati okuzannya ne Murushid Juuko olwo nnamba 2 n’agitandisaamu Nicholas Wadada.

Timothy Awany eyatandika mu kisenge yatandikidde ku katebe ate mu maaso Fahad Bayo n’atandika mu nnamba ya Patrick Kaddu sso nga ne Kizito Luwaga yazannye eya Abdul Lumala ataabaddewo.

Enyimirira ya ttiimu eno nga tegunnatandika yabadde ekuwa ekifannyi egenda kuzannya omupiira ogwokulabagana kyokka omupiira gwatuuse okuggwa nga kizibu okubaako paasi eziwera z’oyinza okunyuimiza ataagulabye nti yasubiddwa.

Ekisenge tekyakoze nnyo nsobi kuba abagenyi babadde tebnalumba nnyo kyokka wakati owabadde Khalid Aucho, Mike Azira ne Farouk Miya wabadde tewakola bulungi kuba baalemeddwa wadde okukubayo paasi etegeerekeka nti omuteebi ayinza okusiba omupiira ne

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Whatsappimage20191206at004506 220x290

Omunigeria Wizkid afuukudde abadigize...

Abantu beeyiye ku Airstrip e Kololo mu kivvulu ky'Omunigeria Wizkid, mu kivvulu ekyatuumiddwa #DirtyDecember Ba...

Nicho 220x290

Amagye gasazeeko ffaamu ya taata...

AMAGYE ne poliisi basazeeko ffaamu ya taata wa Bobi Wine omugenzi Wellington Jackson Ssentamu e Gomba.

Sevo 220x290

Museveni ayongedde ggiya mu kulwanyisa...

PULEZIDENTI MUSEVENI ayongedde ggiya mu kulwanyisa abali b’enguzi era n’awa amagezi abawa abantu emirimu mu bitongole...

Ppp2 220x290

Abantu 20 be bafa obulwadde bw'akafuba...

Bebe Cool akoowoodde Bannayuganda okumwegattako mu kulwanyisa obulwadde bw’akafuba emu ku ndwadde zi nnamutta mu...

Ucumussanyu9214 220x290

UCU Lady Canons ewangudde n'edda...

JKL Dolphins yeetaaga kuwangula nzannya bbiri ku UCU Lady Canons okusitukira mu kikopo kya sizoni eno.