TOP

Mignolet tajulirira kwabulira Liverpool

By Musasi wa Bukedde

Added 18th November 2019

Ggoolokipa Simon Mignolet agambye nti teyejjusa kuva mu Liverpool kakibe nti esemberedde okuwangula ekikopo kya Premier.

Beckerkloppmignolet 703x422

Yategeezezza nti ekyamusazaawo okugenda mu Club Brugge ey’e Belgium gy’azaalwa kwe kuba nti yali talabawo mukisa gwonna gudda mu miti gya Liverpool kibanga omutendesi Jurgen Klopp amatira nnyo Allison Becker.

“Okubeera mu Club Brugge nga nnamba emu kisingira wala okubeera ku katebe mu Liverpool. Okubeera kyampiyoni wa Bungereza ne Bulaaya kigasa ki nga mbugumya katebe? Nfundako ttiimu enjabayaba nga nnina omugaso gy’eri,” Mignolet bwe yatadde akaka.

Club Brugge yagula Mignolet pawundi obukadde 6.4 mu August era nga y’omu ku bali ku mutindo. Agikwatidde emipiira 12 mw’ateebeddwa ggoolo 5 zokka ng’emipiira 8 tateebeddwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tip11 220x290

Laba engeri gy'osobola okufuna...

Laba engeri gy'osobola okufuna emitwalo 16 buli lunaku mu buti obukuma essigiri

Dad1 220x290

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde...

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde abato mu Toto Xmas Festival e Nmboole

Lip1 220x290

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi...

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi

Tap11 220x290

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera...

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera

Gab1 220x290

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga...

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga