TOP

Omutendesi wa Algeria tamatira Benzema

By Musasi wa Bukedde

Added 18th November 2019

Ssita wa Real Madrid, Karim Benzema gy’abadde asuubira abalamuzi asanzeeyo bassi.

Francebenzema 703x422

Omuteebi ono yasabye FIFA emukkirize azannyire Algeria bwe kiba ng’ensi ye Bufalansa egaanyi okumuzza mu ttiimu y’eggwanga.

Wabula omutendesi wa Algeria, Djamel Belmadi oluwulidde bino n’amutegeeza nti talina kifo mu ttiimu ye.

“Karim talina w’azannya mu ttiimu yange. Buli mwana mmumatira era abeere mugezi yeegayirire Bufalansa emuddiremu gy’ayinza okufuna ennamba,” Belmadi bwe yategeezezza.

 ggwanga  abula omutendesi wa lgeria jamel elmadi Oggwanga. Wabula omutendesi wa Algeria, Djamel Belmadi

 

Algeria ng’eri wansi wa Belmadi yawangula ekikopo kya Afrika bwe yakuba Senegal (1-0) ku fayinolo e Misiri mu June w’omwaka guno.

Benzema yakoma okuzannyira Bufalansa mu 2015 oluvannyuma lw’okuzuulwa nga yakabassanya omuwala atanneetuuka. Bazadde be nzaalwa z’e Algeria kyokka yakyusa obutuuze n’afuuka Mufalansa olw’okuba gye yakulira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Funsa 220x290

Eyali Bishop. w'e Moroto afudde...

EYALIKO Omusumba w’e Moroto Bp. Henry Apaloryamam Ssentongo 83, afudde.

Fdc21a700517 220x290

Kkooti egobye omusango gwa Besigye...

KKOOTI etaputa Ssemateeka ewadde Dr. Kiiza Besigye amagezi okugenda mu kkooti ezize oba eri omulamuzi eyamulayiza...

Gavana w’e Nairobi ayiwaayiwa ssente...

GAVANA w’ekibuga Nairobi e Kenya, Mike Sonko 44, ayiwaayiwa ssente n’okukozesa ebintu ebiriko zaabu gamumyukidde...

Jangu 220x290

Maama alaajanira omwana we gwe...

ABATUUZE abaakedde ku muyiggo gw’okunoonya omwana wa mutuuze munnaabwe abadde yabula wiiki bbiri, baakubiddwa encukwe...

Kolayo 220x290

Ebizuuse ku babbi be battidde e...

OMU ku babbi abana abattiddwa e Mutundwe abadde muvuzi wa sipensulo era bangi baasoose kumugaanira olw’enneeyisa...