TOP

Mourinho nkola nkadde

By Musasi wa Bukedde

Added 18th November 2019

Agava mu Arsenal ne Tottenham (Spurs) galaga nti ekikyasibye ttiimu ezo okukansa Jose Mourinho ye ndowooza nti y’omu ku batendesi enkola enkadde.

104221853gettyimages1058902180 703x422

Mourinho

Mourinho 56, yawangula liigi ez’enjawulo mu Bungereza, Yitale ne Spain ssaako Champions League ng’ali ne FC Porto ne Inter Milan wabula abamu bamukubamu ebituli nti obukodyo bwe n’obukulembeze bwe bukadde nnyo obutakyagya mu mulembe guno ogwa tekinologiya n’okutambuliza ensonga ku mikutu gya ‘social media’.

Bajuliza nti mutendesi atanyigirwa mu nnoga era kizibu omuzannyi okumulaba mu kamwa nti kyokka azibuwalirwa okubeera n’abazannyi b’omulembe guno abasiiba ku masimu n’okwogerera ku ‘social media’.

Kino nti kye kyasinga okumulemesa mu ManU nga buli kiseera agugulana ne bassita nga Paul Pogba, abeemulisa ennyo ku ‘social media’.

Spurs erowooza ku Mourinho asikire Mauricio Pochettino alemeddwa okusitula ttiimu eno sso nga ne Arsenal erabika ng’ezitooweredde Unai Emery nga kigambibwa nti waakugobwa singa tagitwala mu Champions League sizoni ejja.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wano 220x290

Centenary bank etadde ssente mu...

Aba Centenary bank beegasse ku Bukedde famire mu nteekateeka yaabwe ey’okuddiza ku basomi ba Bukedde, abalabi ba...

Ye 220x290

Omusajja ow'ebbuba asazeesaze mukazi...

OMUSAJJA alumbye mukyala we ku bugenyi gw’alinamu abaana bana, n’amusala obulago n’amutta ng’amulumiriza obwenzi....

Funsa 220x290

Eyali Bishop. w'e Moroto afudde...

EYALIKO Omusumba w’e Moroto Bp. Henry Apaloryamam Ssentongo 83, afudde.

Fdc21a700517 220x290

Kkooti egobye omusango gwa Besigye...

KKOOTI etaputa Ssemateeka ewadde Dr. Kiiza Besigye amagezi okugenda mu kkooti ezize oba eri omulamuzi eyamulayiza...

Gavana w’e Nairobi ayiwaayiwa ssente...

GAVANA w’ekibuga Nairobi e Kenya, Mike Sonko 44, ayiwaayiwa ssente n’okukozesa ebintu ebiriko zaabu gamumyukidde...