TOP
  • Home
  • Akadirisa
  • Ronaldo tasaanira ya buzannyi bwa nsi yonna - Iker Casillas

Ronaldo tasaanira ya buzannyi bwa nsi yonna - Iker Casillas

By Musasi wa Bukedde

Added 18th November 2019

Iker Casillas, eyali kapiteeni wa Cristiano Ronaldo mu Real Madrid, amuvuddemu nti tasaanira ngule ya buzannyi bwa nsi yonna (Balon D’or) ne yeebuuza n’engeri erinnya lye gye lyateekebwa ku ga Lionel Messi ne Virgil van Dijk.

Cristianoronaldojuventusf365 703x422

Ronaldo

Ggoolokipa wa FC Porto ono, yagambye nti Ronaldo talina mupiira gwa maanyi gwe yazannya sizoni ewedde n’eno wadde nga Juventus yawangula ekikopo kya liigi e Yitale.

“Messi yawangula engule ya FIFA, Van Dijk n’awangula engule ya Bulaaya (UEFA), kati Ronaldo abeera atya ku lukalala? Okumulonda tubeera ng’abatalina kye tugoberera.

Si buli muzannyi nti alina okuvuganya ku Balon D’Or,” Casillas bwe yayongedde okukkatira Ronaldo n’abuuza nti, “Kya tteeka nti abavuganya balina kuwera basatu?”

Omuwanguzi w’engule ya Balon D’or waakulangirirwa nga December 2 nga Messi, ssita wa Barcelona ne Van Dijk owa Liverpool kwe kusuubirwa okuvaako agitwala.

Messi yayamba Barcelona okuwangula liigi y’e Spain ate ye yasinga okuteeba ggoolo mu liigi 5 ezisinga amaanyi mu Bulaaya sso nga Van Dijk yatuusa Liverpool ku kikopo kya Champions League ne Budaaki ku fayinolo ya UEFA Nations League.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

6 220x290

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu...

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu

Omumyuka 220x290

Pulezidenti Museveni teyeeyibaala...

OMUBAKA wa Busiro East mu palamenti, Medard Lubega Sseggona ategeezezza Pulezidenti Museveni nti teyeeyibaala nti,...

Kutte1 220x290

Nakibinge akunyizza Haruna Kitooke...

JJAJJA w’Obusiraamu, Omulangira Kassim Nakibinge, Omulangira Kakungulu Kalifaani, Sheikh Nuuhu Muzaata ne bamaseeka...

And 220x290

Tondaba akanyiriro embeera mbi...

HARUNA alombojjedde Sipapa ebizibu by’ensimbi byatubiddemu olw’okwenyigira mu by’obufuzi.

7900135314007387300859518542802200714280960n 220x290

Gravity Omutujju amaze n’alaga...

KYADDAAKI Gravity Omutujju alaze mukyala we mu lujjudde n’ategeeza nga bwe bagenda okwanjula mu January wa 2020...