TOP
  • Home
  • Akadirisa
  • Eyali ssita wa Chelsea talaba ngeri Mourinho gy'ayinza kutendeka Arsenal

Eyali ssita wa Chelsea talaba ngeri Mourinho gy'ayinza kutendeka Arsenal

By Musasi wa Bukedde

Added 18th November 2019

Glen Johnson, eyazannyirako Chelsea ng’eri wansi wa Jose Mourinho, agambye nti talabawo mukisa gwonna mutendesi ono w’afunira mulimu gwa Arsenal.

Mourinhojohnson 703x422

Kigambibwa nti Mourinho akukuta n’abakungu ba Arsenal abaagala asikire Unai Emery singa ttiimu emulema okutwala mu Champions League sizoni ejja.

Johnson, eyali mu Chelsea wakati wa 2003-07 yategeezezza olupapula Daily Express nti, “Jose si ye muntu gwe nsuubira apapirira okufuna omulimu oguliko puleesa. Talina mulimu kati naye tayinza kumala gakkiriza kugenda mu ttiimu eyuuga. Ajja kulinda afune kiraabu etebenkedde mw’anaakolera ebintu byonna by’ayagala.”

Mourinho yatendeka ku Johnson mu Chelsea wakati wa 2004-06 ne bawangula Premier 2.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mot1 220x290

Ababbi babbye nnamba za mmotoka...

Ababbi babbye nnamba za mmotoka e Kyengera ne basaba ssente

Lab1 220x290

GAVANA alabudde abayuza n'okuwandiika...

GAVANA alabudde abayuza n'okuwandiika ku ssente

Lop1 220x290

Minisita ayagala KCCA esse obukwakulizo...

Minisita ayagala KCCA esse obukwakulizo obupya ku baagala okuzimba ebizimbe mu Kampala

Funayo 220x290

Attottodde engeri omuzigu gye yatemye...

OMUKAZI Florence Nannyombi ‘omutujju’ gwe yasikambuddeko omwana we Amos Sekanza ow’emyaka omusanvu n’amutemako...

Gata1 220x290

Omusajja atemyeko abantu 4 emitwe...

OMUSAJJA bwe yatemyeko obulago abantu bana, baasoose kumuyita mulalu. Azzeeyo ku kyalo n’atemako emitwe abalala...