TOP

Gary Neville anyiizizza aba ManU

By Musasi wa Bukedde

Added 18th November 2019

Abawagizi ba ManU balangidde eyali kapiteeni waabwe, Gary Neville okubeera kalinkwe era munnanfuusi olw’okuwagira famire ya Glazer, nnannyini ttiimu eno.

Gettyimages1131875570 703x422

Neville, omu ku baayamba ttiimu eno okukukumba ebikopo mu sizoni ya 1998-99, awagira ekya famire ya Glazer okutunda ttiimu eno, abawagizi kye bawakanya.

Kigambibwa nti Ba Glazer balina entegeka z’okutunda ManU eri Sheikh Mohammed bin Salman, alinze okusikira Nnamulondo y’Obwakabaka bw’e Saudi Arabia.

Ba Glazer balina ebbanja lya pawundi obukadde 204 era Glazer yagambye nti bwe kiba ng’okutunda ttiimu eno kye kinaalimalawo, kirungi.

Yabawolerezza nti si be bannannyini ttiimu ya mupiira abakyasinze obubi, ekinyiizizza abawagizi ne bagamba nti, “Gary alaze ki ky’ali. Tasaanira kussibwamu kitiibwa muwagizi yenna owa ManU kibanga munnanfuusi.”

Omumerika Malcolm Glazer yagula ManU mu 2005 kyokka oluvannyuma lw’okufa, batabani be; Joe ne Avram kati be bagiddukanya.

ManU yaamusanvu mu Premier ng’erina obubonero 16 mu mipiira 12. Liverpool ekulembedde erina 34 mu mipiira gye gimu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tip11 220x290

Laba engeri gy'osobola okufuna...

Laba engeri gy'osobola okufuna emitwalo 16 buli lunaku mu buti obukuma essigiri

Dad1 220x290

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde...

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde abato mu Toto Xmas Festival e Nmboole

Lip1 220x290

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi...

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi

Tap11 220x290

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera...

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera

Gab1 220x290

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga...

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga