TOP

Messi azzeemu okusiiwuuka empisa

By Musasi wa Bukedde

Added 18th November 2019

OLUVANNYUMA lw’okumalako ekibonero ky’emipiira ebiri nga tazannyira mu ttiimu y’eggwanga eya Argentina, Lionel Messi yakomyewo na maanyi bwe yateebye ggoolo yokka kwe baawangulidde ‘baggya baabwe’ aba Brazil mu gw’omukwano ku Lwomukaaga.

Argentinamessijubilates 703x422

Messi

Omupiira guno ogwabadde e Saudi Arabia, Messi era yasiiwuukiddemu empisa bwe yagugulanye n’omutendesi wa Brazil, Tite n’amusaba abunire ng’akozesa akabonero k’engalo.

Tite yakkirizza bwe baasoowaganye ne Messi n’atangaaza nti yabadde agamba ku ddiifiri aleme kubeera mu ‘ngatto’ za Messi.

Kapiteeni wa Brazil, Thiago Silva yalumbye Messi olwa kye yayise okulengezza omutendesi waabwe n’agattako nti, “Messi yalekeredde okuzannya omupiira ne yeefuula ddiifiri waagwo”.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tip11 220x290

Laba engeri gy'osobola okufuna...

Laba engeri gy'osobola okufuna emitwalo 16 buli lunaku mu buti obukuma essigiri

Dad1 220x290

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde...

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde abato mu Toto Xmas Festival e Nmboole

Lip1 220x290

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi...

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi

Tap11 220x290

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera...

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera

Gab1 220x290

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga...

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga