TOP

Villa ekaabirizza Onduparaka omwayo

By Nicholas Kalyango

Added 18th November 2019

Ggoolo ya Emma Kalyowa mu ddakiika eyookutaano, Faizol Muwawu (14) ne Fahad Bardiro (91), ze ziyambye Villa okuwangula ne ggoolo 3-1

Villapolice04 703x422

Enock Kibumba ng'awese Emma Kalyowa eyateebedde SC Villa emu ku ggoolo 3.

Onduparaka 1-3 SC Villa

Wadde ng’abazannyi ba SC Villa basoose kwekalakaasa ku Lwomukaaga nga bwe batiisa nga bwe batagenda kuzannya mupiira gwa liigi leero (Mmande), obusungu baabutadde ku bbali ne bakubira Onduparaka omwayo.

Ggoolo ya Emma Kalyowa mu ddakiika eyookutaano, Faizol Muwawu (14) ne Fahad Bardiro (91), ze ziyambye Villa okuwangula ne ggoolo 3-1 ng’eya  Onduparaka eteebeddwa Julius Malingumu mu ddakiika ey’e 66.

Villa esigaddewo mu kyokusatu n’obubonero 27 okuva mu mipiira 14 nga BUL eri mu kyokubiri egisinza obubonero 2 bwokka n’omupiira gumu. Vipers ekulembedde liigi n’obubonero 33 okuva mu mipiira 14.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Whatsappimage20191213at212901copy 220x290

Balaze waaka ku mpaka z'emisono...

Balaze waaka ku mukolo gw'okwolesa emisono ogwategekeddwa Abraynz ku Serena Hotel mu Kampala

Steelandtubebyjmutebi2 220x290

'Abakozi mukomye okwemulugunya'...

FAAZA Raymond Kalanzi ow’e kiggo ky’e Kiwamirembe alabudde abakozi abasiiba ku mirimu yonna gye bali nga beemulugunya...

Fanda1 220x290

Eyasuulawo mukyala we emyaka 25...

SSEMAKA eyasuulawo mukyala we ng’afunye omulala akomyewo oluvannyuma lw’emyaka 25 n’amukuba empeta.

Bba 220x290

Kkamera ziraze eyabbye emmotoka...

KKAMERA za poliisi zikutte omusajja omulala ng’abba emmotoka eyabadde esimbiddwa okumpi n’eddwaaliro ly’e Mulago....

Tamalemirundi 220x290

Tamale Mirundi agobye abamulambula...

Mikwano gya Tamale Mirundi betwayogeddeko nabo baategeezezza nti obulwadde Tamale bwamwetamizza abantu era mu bamu...