TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Onyango n'abawagizi basiimye ebitone ebizze ku Cranes

Onyango n'abawagizi basiimye ebitone ebizze ku Cranes

By Ismail Mulangwa

Added 18th November 2019

Bayo, yazannye eddakiika 90 so nga Okello yazannyeko 25 oluvannyuma lw’okuyingira mu kifo kya Kizito Luwagga.

Uganda4 703x422

Onyango (ku kkono) n'abawagizi abaabadde e Namboole.

KAPITEENI wa Cranes, Denis Onyango atenderezza omutindo gwa Allan Okello ne Fahad Bayo gwe baayoleseza ku mulundi gwabwe ogwasoose okuyitibwa ku ttiimu enkulu. Bano baabadde mu mupiira nga Cranes emegga Malawi (2-0) e Namboole ku Ssande.

Bayo, yazannye eddakiika 90 so nga Okello yazannyeko 25 oluvannyuma lw’okuyingira mu kifo kya Kizito Luwagga.

 ayo ngajaganyizza ggoolo ye u katono ye kello Bayo ng'ajaganyizza ggoolo ye. Mu katono ye Okello.

 

Onyango agambye nti buli muzannyi aweebwa omukisa agukozese kuba ttiimu erina abazannyi abazannyira mu liigi y’awaka abalina ebitone. “Nsanyukidde nnyo omutindo Okello gwe yayolesezza kuba ku myaka gye nga gwe mulundi ogusooka ku Cranes nabadde sikimusuubiramu.”

Bayo yateebye ggoolo ye eyasoose mu kampeyini eno mu ddakiika ey’e 66 so nga ye Okello katono asse abawagizi essanyu olw’engeri obwedda gye yeekiririzzaamu ng’akutte omupiira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Know 220x290

Baze yanjiira asidi lwa kumugaana...

OBUTABANGUKO mu maka kimu ku bizibu ebiyuuya obufumbo mu ggwanga. Abakazi be basinga okukosembwa embeera eno era...

Laga1 220x290

Bwe nnafuna olubuto lw'abalongo...

NZE Ritah Byeganje, 25, ndi mutuuze mu Katoogo zooni mu muluka gwa Bwaise III e Kawempe. Nasinsinkana ne muganzi...

Yamba 220x290

Baze bwe yayingirira eby'okusamize...

EBIKOLWA by’okusamira n’okukozesa ebyawongo kimu ku bivuddeko obufumbo bw’ensangi zino okutabanguka.

Abakungubanrmmuofiisiyacaojamesnkataabaakulembeddwardcfredbamwineasookakuddyowebuse 220x290

RDC w’e Mukono akulembeddemu kaweefube...

Abakulembeze e Mukono bavuddeyo ku byobugagga bya disitulikiti y'e Mukono ebigambibwa okutundibwa

Abazaddenabongabavuganyamumpakazokuddukanolondaakapapulaobweddaobulimuebiraboebyenjawulowebuse 220x290

Abazadde bawangulidde abaana baabwe...

Omukulu w'essomero akakoze bw'addizza abazadde ebirabo n'abaleka nga bamutenda omwoyo gw'okuddiza