TOP
  • Home
  • Akadirisa
  • Messi n'era ayongedde okusiiwuuka empisa mu gwa Uruguay

Messi n'era ayongedde okusiiwuuka empisa mu gwa Uruguay

By Musasi wa Bukedde

Added 19th November 2019

Yateebedde Argentina ggoolo eyagiyambye okulemagana ne Uruguay (2-2) ku Mmande kyokka n’agugulana n’omuteebi wa Uruguay, Edson Cavani.

Lionelmessifansmockcristianoronaldoafterargentinastarscoresagainsturuguay1206166 703x422

Messi

Ssita wa Argentina, Lionel Messi azzeemu okusiiwuukira empisa mu kisaawe.

Yateebedde Argentina ggoolo eyagiyambye okulemagana ne Uruguay (2-2) ku Mmande kyokka n’agugulana n’omuteebi wa Uruguay, Edson Cavani.

Nga Argentina ewangula Brazil (1-0) wiiki ewedde, Messi ye yateeba kyokka era n’agugulana n’omutendesi wa Brazil, Tite gwe yalagira asirikeko ng’akozesa akabonero k’engalo.

Emipiira gino ebiri egy’omukwano, Messi gye yakomeddewo okuva ku kkoligo ly’emipiira ebiri egyamuwerwa olw’okulangira abakulira omupiira mu South America nti bazinira ku ntoli za Brazil. Kino kyaddirira Brazil okuwangula Argentina ku semi ya Copa Amerika, Messi n’alumiriza ddiifiri nti yabasaliriza.

Messi azannyira mu Barcelona ate Cavani ali mu PSG.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Whatsappimage20191213at212901copy 220x290

Balaze waaka ku mpaka z'emisono...

Balaze waaka ku mukolo gw'okwolesa emisono ogwategekeddwa Abraynz ku Serena Hotel mu Kampala

Steelandtubebyjmutebi2 220x290

'Abakozi mukomye okwemulugunya'...

FAAZA Raymond Kalanzi ow’e kiggo ky’e Kiwamirembe alabudde abakozi abasiiba ku mirimu yonna gye bali nga beemulugunya...

Fanda1 220x290

Eyasuulawo mukyala we emyaka 25...

SSEMAKA eyasuulawo mukyala we ng’afunye omulala akomyewo oluvannyuma lw’emyaka 25 n’amukuba empeta.

Bba 220x290

Kkamera ziraze eyabbye emmotoka...

KKAMERA za poliisi zikutte omusajja omulala ng’abba emmotoka eyabadde esimbiddwa okumpi n’eddwaaliro ly’e Mulago....

Tamalemirundi 220x290

Tamale Mirundi agobye abamulambula...

Mikwano gya Tamale Mirundi betwayogeddeko nabo baategeezezza nti obulwadde Tamale bwamwetamizza abantu era mu bamu...