TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Eza Big League zoolekedde okubonerezebwa

Eza Big League zoolekedde okubonerezebwa

By Gerald Kikulwe

Added 19th November 2019

Kitara ne Doves ezizannyira mu Big League zoolekedde okubonerezebwa lwakugaana kumalako mupiira

Kitaraweb 703x422

Abazannyi ba Kitara nga bibasobedde

FUFA egenda kukangavvula ttiimu ya  Kitara ne Doves olw’okugaana okumalako okuzannya eddakiika 90 bwe baabadde battunka mu mupiira gwa Big League.

Ekitundu kya Big League ekisooka sizoni eno kyakomekkerezeddwa ku wiikendi n’emipiira ebiri, wabula ogwa Kitara ne Doves  tegwawedde oluvannyuma lw’abazannyi okudduka mu kisaaw olwa ttiyaggaasi okukibuutikira, poliisi y’e Hoima bwe yabadde egoba ababbi ba bodaboda.

oah ugerwa atendeka oves Noah Mugerwa, atendeka Doves

 

Omupiira ogwabadde mu ddakiika ya 40 nga Kitara egukulembedde ggoolo 2-0, gwayimiridde okumala eddakiika 15, wabula oluvannyuma ddiifiri Deogratius Opio n’alagira ttiimu okudda mu kisaawe, kyokka ne bagaana.

“Twabadde tetusobola kuddamu kuzannya  ng’abazannyi baffe bana bakoseddwa ttiyaggaasi,” Noah Mugerwa, atendeka Doves bwe yategeezezza.

 oshua tugonza maneja wa itara Joshua Atugonza, maneja wa Kitara FC

 

Ye Joshua Atugonza, maneja wa Kitara agamba nti baabadde beetegefu okuddamu okuzannya era baabadde mu kisaawe okutuusa eddakiika 90 lwe zaaweddeyo, wabula tebamanyi ddiifiri kye yawandiise mu lipooti.

“Okugaana okuzannya omupiira musango. Ttiimu zombi tugenda kuziyita mu kakiiko akakwasisa empisa nga tetunnasalawo kyankomeredde,” Aisha Nalule akulira empaka mu FUFA bwe yagambye. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Know 220x290

Baze yanjiira asidi lwa kumugaana...

OBUTABANGUKO mu maka kimu ku bizibu ebiyuuya obufumbo mu ggwanga. Abakazi be basinga okukosembwa embeera eno era...

Laga1 220x290

Bwe nnafuna olubuto lw'abalongo...

NZE Ritah Byeganje, 25, ndi mutuuze mu Katoogo zooni mu muluka gwa Bwaise III e Kawempe. Nasinsinkana ne muganzi...

Yamba 220x290

Baze bwe yayingirira eby'okusamize...

EBIKOLWA by’okusamira n’okukozesa ebyawongo kimu ku bivuddeko obufumbo bw’ensangi zino okutabanguka.

Abakungubanrmmuofiisiyacaojamesnkataabaakulembeddwardcfredbamwineasookakuddyowebuse 220x290

RDC w’e Mukono akulembeddemu kaweefube...

Abakulembeze e Mukono bavuddeyo ku byobugagga bya disitulikiti y'e Mukono ebigambibwa okutundibwa

Abazaddenabongabavuganyamumpakazokuddukanolondaakapapulaobweddaobulimuebiraboebyenjawulowebuse 220x290

Abazadde bawangulidde abaana baabwe...

Omukulu w'essomero akakoze bw'addizza abazadde ebirabo n'abaleka nga bamutenda omwoyo gw'okuddiza