TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Ey'abakazi emaliridde okwesogga semi za CECAFA

Ey'abakazi emaliridde okwesogga semi za CECAFA

By Stephen Mayamba

Added 19th November 2019

Crested Cranes, ttiimu y'abakazi ey'omupiira, ewera kufiira ku Ethiopia yeeyongereyo mu za CECAFA Women Challange Cup 2019

Crestedweb 703x422

Fauzia Najjemba owa Crested Cranes yasala omuzannyi wa Ethiopia n'amuleka ku ttaka, bwe baasisinkana mu z'okusunsulamu abalizannya emizannyo gya Olympics, mu April

Egyazannyiddwa

Uganda 13-0 Djibouti

Ethiopia 0-2 Kenya

Leero (Lwakubiri)

Kenya - Djibouti, 8

Uganda - Ethioipia 10:30

TTIIMU y’eggwanga ey’omupiira ey’abakazi, The Crested Cranes, ewera kwesasuza Ethiopia eyagiremesa okwetaba mu mizannyo gya Olympics.

Crested Cranes esamba Ethiopia (leero (Lwakubiri), mu mupiira ogwokubiri mu kibinja B, mu mpaka z’omupiira gw’abakazi mu mawanga g’obuvanjuba n’amasekkati ga Afrika, 'CECAFA Women Challenge Cup 2019’, eziyindira mu kibuga Dar es Salaam, mu Tanzania.

Mu gwasoose ku Ssande, Uganda yakomeredde Djibouti ggoolo 13-0, nga kati yeetaaga kuwangula Ethiopia yeesogge semi. Ethiopia, eyakubiddwa Kenya 2-0, singa Uganda egidda mu biwundu, mu gusembayo ejja kuba etuusa mukolo.

 mutendesi wa rested ranes ku kkono nomu ku bayambi be yub halifa nga begeyamu mu kutendekebwa Farida Bulega, omutendesi wa Crested Cranes (ku kkono) n'omu ku bayambi be, Ayub Khalifa beegeyamu.

 

Uganda erina ekkonda ku Ethiopia olw’okugiwandula mu z’okusunsulamu z’emizannyo gya Olympics egigenda okubeera e Japan omwaka ogujja, bwe yagikuba ku mugatte gwa ggoolo 4-2 mu April. Ethiopia yawangula 3-2 mu Addis Ababa ate bwe yakyala e Kampala  n'ewangula 1-0.

Omutendesi Farida Bulega essuubi limuli mu bateebi be abaayolesezza  omutindo omusuffu nga bawuttula Djibouti. Juliet Nalukenge yateebye ggoolo 5, Hasifa Nassuuna ne Fazila Ikwaput, 3 buli omu, ate Fauzia Najjemba ne Amina Nababi buli omu yateebye ggoolo emu.

Uganda esembyayo Kenya ku Lwokuna.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Whatsappimage20191213at212901copy 220x290

Balaze waaka ku mpaka z'emisono...

Balaze waaka ku mukolo gw'okwolesa emisono ogwategekeddwa Abraynz ku Serena Hotel mu Kampala

Steelandtubebyjmutebi2 220x290

'Abakozi mukomye okwemulugunya'...

FAAZA Raymond Kalanzi ow’e kiggo ky’e Kiwamirembe alabudde abakozi abasiiba ku mirimu yonna gye bali nga beemulugunya...

Fanda1 220x290

Eyasuulawo mukyala we emyaka 25...

SSEMAKA eyasuulawo mukyala we ng’afunye omulala akomyewo oluvannyuma lw’emyaka 25 n’amukuba empeta.

Bba 220x290

Kkamera ziraze eyabbye emmotoka...

KKAMERA za poliisi zikutte omusajja omulala ng’abba emmotoka eyabadde esimbiddwa okumpi n’eddwaaliro ly’e Mulago....

Tamalemirundi 220x290

Tamale Mirundi agobye abamulambula...

Mikwano gya Tamale Mirundi betwayogeddeko nabo baategeezezza nti obulwadde Tamale bwamwetamizza abantu era mu bamu...