TOP

Nkumba ekikoze n'era

By Gerald Kikulwe

Added 19th November 2019

Ttiimu ya Nkumba university ewangudde ekikopo kya liigi ya volleyball omulundi ogw'okusatu ogw'omuddiring'anwa.

Nkumbaweb 703x422

Abazannyi n'abawagizi ba Nkumba mu ssanyu

 

Mu Liigi ya Volleyball

Nkumba 2-0 KCCA

ENDUULU yabuutikidde MTN Arena e Lugogo ng’abawala ba Nkumba University beddiza ekikopo kya liigi ya volleyball omulundi ogwokusatu ogw’omuddiring’anwa. Baakubye KCCA  wiini 2-0.

Fayinolo zaaggulwawo ku Lwokuna lwa wiiki ewedde, nga ttiimu zombi zirina okwezannya emirundi esatu, wabula ogwokusatu tegwazannyiddwa oluvannyuma lwa Nkumba okuwangula ensiike ebbiri ezaasoose  ku wiini 3-1 ne 3-0.

Joan Nabbuto, kapiteeni wa KCCA yeekazizza ng’ekigendererwa kyabwe sizoni eno bwe kyali eky'okutuuka ku sem’ era okutuuka ku fayinolo bw’abadde buwanguzi.

“Tetwejjusa wetutuuse sizoni eno, naye batulinde sizoni ejja,” Nabbuto bwe yategeezezza.

 bazannyi ba kumba nekikopo Abazannyi ba Nkumba n'ekikopo

 

Doreen Akiteng, kapiteeni wa Nkumba agamba nti kino babadde bakisuubira kubanga ttiimu yaabwe ebadde ku mutindo gwa waggulu ate ng'ezannyisa bumalirivu.

“Kino kati kiwedde, twagala kukolerera ‘quarter’ za 'African Club Championship', tubadde tetuva mu kibinja naye ku luno twewulira eryanyi,” Akiteng bwe yakkaatirizza.

Kino kye kikopo kya Nkumba ekyomusanvu bukya liigi eno etandika mu 1999.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Whatsappimage20191213at212901copy 220x290

Balaze waaka ku mpaka z'emisono...

Balaze waaka ku mukolo gw'okwolesa emisono ogwategekeddwa Abraynz ku Serena Hotel mu Kampala

Steelandtubebyjmutebi2 220x290

'Abakozi mukomye okwemulugunya'...

FAAZA Raymond Kalanzi ow’e kiggo ky’e Kiwamirembe alabudde abakozi abasiiba ku mirimu yonna gye bali nga beemulugunya...

Fanda1 220x290

Eyasuulawo mukyala we emyaka 25...

SSEMAKA eyasuulawo mukyala we ng’afunye omulala akomyewo oluvannyuma lw’emyaka 25 n’amukuba empeta.

Bba 220x290

Kkamera ziraze eyabbye emmotoka...

KKAMERA za poliisi zikutte omusajja omulala ng’abba emmotoka eyabadde esimbiddwa okumpi n’eddwaaliro ly’e Mulago....

Tamalemirundi 220x290

Tamale Mirundi agobye abamulambula...

Mikwano gya Tamale Mirundi betwayogeddeko nabo baategeezezza nti obulwadde Tamale bwamwetamizza abantu era mu bamu...