TOP

Owa KCCA yeesunga kukaabya URA

By Ismail Mulangwa

Added 19th November 2019

Oluvannyuma lwa Allan Okello, Charles Lukwago ne Nicholas Kasozi okukomawo, Mike Mutebi mugumu nti bagenda kulabya URA ennaku.

Kasozi 703x422

Nicholas Kasozi owa KCCA (ku kkono) ng'attunka n'owa URA.

KCCA - URA, Lugogo 10:00

OMUTENDESI wa KCCA Mike Mutebi akakasizza ng’abazannyi be mpagiruwagga bwe bakomyewo mu kutendekebwa oluvannyuma lw’okukikirira eggwanga mu mpaka z’okusunsulamu abalizannya eza Afrika.

Allan Okello, Charles Lukwago ne Nicholas Kasozi babadde ne Cranes wabula Mutebi mugumu nti kebaakomyewo agenda kumegga URA. Sizoni ewedde URA yamegga KCCA e Lugogo ku ggoolo 2-1, nga ku luno Mutebi ayagala kubeesasuza.

 utebi     Mutebi

 

KCCA ewangudde emipiira gyaayo 5 egy’omudirigana wabula URA, yo by’esiba bikutuka kuba sizoni eno yaakawangulayo emipiira esatu gyokka nga yasembye kugwa maliri ne Busoga United (0-0).

Mu nsiike y’enkya (Lwakusatu), KCCA eyagala buwanguzi oluvannyuma lw’okukubwa Vipers (1-0), esobole okufunza obubonero obugisingibwa.

KCCA yaakutaano n’obubonero 22 ate URA eri mu kya 12 n’obubonero 15 mu mipiira 12.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Whatsappimage20191206at004506 220x290

Omunigeria Wizkid afuukudde abadigize...

Abantu beeyiye ku Airstrip e Kololo mu kivvulu ky'Omunigeria Wizkid, mu kivvulu ekyatuumiddwa #DirtyDecember Ba...

Nicho 220x290

Amagye gasazeeko ffaamu ya taata...

AMAGYE ne poliisi basazeeko ffaamu ya taata wa Bobi Wine omugenzi Wellington Jackson Ssentamu e Gomba.

Sevo 220x290

Museveni ayongedde ggiya mu kulwanyisa...

PULEZIDENTI MUSEVENI ayongedde ggiya mu kulwanyisa abali b’enguzi era n’awa amagezi abawa abantu emirimu mu bitongole...

Ppp2 220x290

Abantu 20 be bafa obulwadde bw'akafuba...

Bebe Cool akoowoodde Bannayuganda okumwegattako mu kulwanyisa obulwadde bw’akafuba emu ku ndwadde zi nnamutta mu...

Ucumussanyu9214 220x290

UCU Lady Canons ewangudde n'edda...

JKL Dolphins yeetaaga kuwangula nzannya bbiri ku UCU Lady Canons okusitukira mu kikopo kya sizoni eno.