TOP
  • Home
  • Rally
  • Sharifah Kateete waakuvuga ddigi n'emmotoka e Garuga

Sharifah Kateete waakuvuga ddigi n'emmotoka e Garuga

By Ismail Mulangwa

Added 19th November 2019

Wadde ng'olutalo ku ngule ya MX125 luli wakati wa Wazir Omar ne Fortune Ssentamu, Sharifah Kateete alayidde okubalaga ttalanta e Garuga.

Sharifah1 703x422

Abategensi n'abavuzi mu kutongoza empaka.

EKIBANYI kya kugwa n’amenvu ku Ssande e Garuga ng’abavuzi ba ddigi battunka mu mpaka ezaakamalirizo eza ‘Mountain Dew Motorcross Championship’ laawundi eyoomusanvu nga ze ziggalawo kalenda ya ddigi.

Ku mulundi guno abawagizi bakunyumirwa emirundi ebiri; ddigi saako ne mmotoka z’empaka ng’era Sharifah Kateete amanyiddwa ennyo mu ddigi waakusomera kitaawe, Abdul Kateete maapu.

 ateete mu katono waakutuula mu mmotoka ya kitaawe ngomusomi wa maapu Kateete (mu katono) waakutuula mu mmotoka ya kitaawe ng'omusomi wa maapu.

 

Sharifah agambye nti, ku mulundi guno waakusabukulula bipya byerere kuba omwezi oguwedde yayiga bingi mu mpaka z’abamaggye eza ‘Armed Forces’ omwali okuvuganya okw’amanyi n’abagwira.

Wabula olutalo mu mutendera mwali (ogwokusatu MX125) lusinga kubeera wakati wa Wazir Ali Omar ne Fortune Sentamu abalwanira engule. Wazir akulembedde alina obubonero 297 ng’asinga Sentamu obubonero 52.

 bavuzi nga hadia ateete baakulwanira ennamba ku ttiimu yeggwanga Abavuzi nga Shadia Kateete baakulwanira ennamba ku ttiimu y'eggwanga.

 

Empaka zino abavuzi baakuzeeyambisa okulwanira ebifo ku ttiimu y’eggwanga egenda okuttunka mu mpaka z’amawanga agava mu buvanjuba n’amasekkati ga Afrika nga December 7 e Kenya.

Empaka zaakulagibwa layivu ku Urban TV, eya Vision Group efulumya ne Bukedde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Whatsappimage20191206at004506 220x290

Omunigeria Wizkid afuukudde abadigize...

Abantu beeyiye ku Airstrip e Kololo mu kivvulu ky'Omunigeria Wizkid, mu kivvulu ekyatuumiddwa #DirtyDecember Ba...

Nicho 220x290

Amagye gasazeeko ffaamu ya taata...

AMAGYE ne poliisi basazeeko ffaamu ya taata wa Bobi Wine omugenzi Wellington Jackson Ssentamu e Gomba.

Sevo 220x290

Museveni ayongedde ggiya mu kulwanyisa...

PULEZIDENTI MUSEVENI ayongedde ggiya mu kulwanyisa abali b’enguzi era n’awa amagezi abawa abantu emirimu mu bitongole...

Ppp2 220x290

Abantu 20 be bafa obulwadde bw'akafuba...

Bebe Cool akoowoodde Bannayuganda okumwegattako mu kulwanyisa obulwadde bw’akafuba emu ku ndwadde zi nnamutta mu...

Ucumussanyu9214 220x290

UCU Lady Canons ewangudde n'edda...

JKL Dolphins yeetaaga kuwangula nzannya bbiri ku UCU Lady Canons okusitukira mu kikopo kya sizoni eno.