TOP
  • Home
  • Akadirisa
  • Gareth Bale yeerinde obusunga bw'abawagizi ba Real Madrid

Gareth Bale yeerinde obusunga bw'abawagizi ba Real Madrid

By Musasi wa Bukedde

Added 20th November 2019

Nga tafudde ku bya kunyiiza bawagizi ba Real Madrid, essanyu lya Wales okuyitamu okuzannya empaka za Bulaaya (Euro 2020) Gareth Bale lyamuyitiriddeko n’ajaguza mu ngeri erengezza ttiimu yaabwe.

Thumbnailwalesbalecelebration 703x422

Wales yakubye Hungary (2-0) n’eyitamu kyokka Bale ng’ajaganya, yakutte bendera ya Wales nga kuliko ebigambo; Wales; Golf; Real Madrid ekyataputiddwa nti ku lulwe Wales y’ekulembera, golf n’addako olwo Real Madrid n’ekoobera.

Kino kisuubirwa okunyiiza abawagizi ba Real gy’asasulwa pawundi emitwalo 35 nga tekuli musolo buli wiiki olw’obutassa ttiimu yaabwe mu kifo ekisooka.

Bale era yategeezezza ng’omupiira gwakaggwa nti awulira ng’ali mu ‘Ggulu’ buli lw’assaako omujoozi gwa Wales.

Ssita ono takwatagana na mutendesi Zinedine Zidane era nga mu July yabulako katono okukansibwa ttiimu y’e China.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ev1 220x290

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa...

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa

Mayinjangaayimba 220x290

Mayinja yeeganye eby'okuwagira...

Yayogedde ku nkolagana ye n’aba NRM n’agamba nti ali ku mulamwa gwa kubaperereza kwegatta ku kisinde kya People...

Wanga 220x290

Muwala wa kkansala owa S5 bamutuze...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Kisowera mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono mu kiro ekikeesezza olwa...

Malawo 220x290

Ab’ewa Kisekka batabukidde Gavt....

ABASUUBUZI b’ekiwayi kya ssentebe Robert Kasolo ewa Kisekka bawadde gavumenti obukwakkulizo ku kabineeti kye yayisa...

Load 220x290

Aba LDU bakubye babiri amasasi...

ABASIRIKALE ba LDU bazzeemu okukuba abantu babiri amasasi ng’entabwe evudde ku bbiina ly’abantu abaabadde baagala...