TOP
  • Home
  • Akadirisa
  • Barcelona eyagala Pochetinno asikire Ernesto Valverde

Barcelona eyagala Pochetinno asikire Ernesto Valverde

By Musasi wa Bukedde

Added 21st November 2019

Barcelona, bakyampiyoni ba Spain bandikola eky’omuzizo ne bakansa omutendesi eyatendekako Espanyol FC, bwe batalima kambugu.

Mauriciopochettino2019 703x422

Mauricio Pochetinno

Kigambibwa nti abamu ku bakungu ba Barcelona baagala Mauricio Pochettino, eyagobeddwa Spurs, y’aba asikira Ernesto Valverde alemeddwa okutuusa ttiimu yaabwe ku mutindo ogwa waggulu.

Pochettino yazannyira n’okutendekako Espanyol bwe bali akabwa n’engo ne Barcelona mu kitundu ky’e Catalunya mu Spain. Ono (Pochettino) aludde ng’agamba nti tayinza kutendeka Barcelona era nti agirinako obukyayi.

Wabula kigambibwa nti waliwo abakungu ba Barcelona abagamba nti ebyo Pochettino abadde abyogera kunyumisa mboozi na banne kyokka ng’omulimu bwe gumuweebwa agukola nga pulofeesono ate ng’enzannya gy’alowoolezaamu ya ‘kawoowo’ egwa mu nnono yaabwe.

Valverde ali ku bunkenke olw’abawagizi ba Barcelona obutamumatira nti akonyezza ttiimu eno.

Wadde ye kyampiyoni w’e Spain era nga y’ekulembedde liigi yaayo, Barcelona yaakasuula obubonero 11 mu mipiira 12 ate nga sizoni ewedde, Liverpool yagiggya mu Champions League mu buswavu bwe yagiwuttula ggoolo 4-0 e Bungereza nga Barcelona yasooka kuwangula 3-0 e Spain.

Bayern Munich eya Girimaani nayo etokota Pochettino adde mu kifo kya Niko Kovac gwe yagoba ku ntandikwa y’omwezi guno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Seb1 220x290

Beefudde abasawo ne bamufera obukadde...

Beefudde abasawo ne bamufera obukadde 15

Gab1 220x290

Omutaka Gabunga awummuzza basajja...

Omutaka Gabunga awummuzza basajja be

Pip1 220x290

Aba People Power bongedde okwenyweza...

Aba People Power bongedde okwenyweza

Lat1 220x290

Enkungaana za Bobi Wine zirinnyiddwamu...

Enkungaana za Bobi Wine zirinnyiddwamu eggere

Ch16 220x290

Ebyaviiriddeko Rema akuding'ana...

Ebyaviiriddeko Rema akuding'ana ne Evans