Oluvannyuma lw’okuyamba Wales okukuba Hungary (2-0) n’eyitamu okuzannya empaka za Bulaaya (Euro) omwaka ogujja, Bale yajaganyizza mu ngeri enafuya Real Madrid bwe yeesibye bendera y’eggwanga lye nga kuliko; Wales: Golf: Real Madrid ekyataputiddwa nti yabadde asooka kwagala ggwanga lye, golf n’addako olwo Real Madrid n’ekoobera.
Olupapula Marca olufulumira mu Spain lwalumbye Bale nti yayitiridde okuvvoola n’okulengezza Real Madrid ate nga y’emusasula ne lusaba abakulira ttiimu eno balowooze ku ky’okumweggyako nti kisinga okwesiba ku muzannyi eyabakoowa.
Bale takwatagana na mutendesi wa Real, Zinedine Zidane era nga yabulako katono okwabulira ttiimu eno agende e China mu August w’omwaka guno.
Ku Lwomukaaga, Real ekyaza Sociedad nga tekimanyiddwa oba Zidane anaazannyisa Bale.