TOP

Martin Keown anyiizizza aba Arsenal

By Musasi wa Bukedde

Added 21st November 2019

Martin Keown, omu ku bazibizi abaayitimukira ennyo mu Arsenal era nga yali mu ttiimu eyawangula Premier nga tekubiddwaamu mu sizoni ya 2003-04, anyiizizza abawagizi baayo.

Thumbnailunaiemerypoints 703x422

Ng’ali ku ttivvi ya Sky, Omungereza Keown yawadde abakulira Arsenal amagezi bakanse omutendesi Mauricio Pochettino, eyagobeddwa Tottenham (Spurs) ku Lwokusatu.

Abawagizi ba Arsenal baamulumbiddewo n’ebivumo nga bagamba nti teyandibadde ye amanyi obulungi akakuku ka Arsenal ne Spurs n’awagira omutendesi agobeddwa ‘baggya baabwe’ okujja mu Arsenal.

Arsenal ne Spurs bali kabwa na ngo olw’okuva mu kibuga ekimu (London) ate nga baliraanaganye nnyo. Sol Campbell, eyali kapiteeni wa Spurs na buli kati abawagizi baayo baamukyawa olw’okwegatta ku Arsenal ng’endagaano ye eweddeko.

Keown yagambye nti Pochettino asingira wala Unai Emery, eyasikira Arsene Wenger sizoni ewedde.

Arsenal yaamukaaga mu Premier ng’erina obubonero 17 mu mipiira 12.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Seb1 220x290

Beefudde abasawo ne bamufera obukadde...

Beefudde abasawo ne bamufera obukadde 15

Gab1 220x290

Omutaka Gabunga awummuzza basajja...

Omutaka Gabunga awummuzza basajja be

Pip1 220x290

Aba People Power bongedde okwenyweza...

Aba People Power bongedde okwenyweza

Lat1 220x290

Enkungaana za Bobi Wine zirinnyiddwamu...

Enkungaana za Bobi Wine zirinnyiddwamu eggere

Ch16 220x290

Ebyaviiriddeko Rema akuding'ana...

Ebyaviiriddeko Rema akuding'ana ne Evans