TOP

Ebya Moses Magogo bibi!

By Hussein Bukenya

Added 22nd November 2019

MINISITA w’Ebyenjigiriza n’Ebyemizannyo, Janet Kataha Museveni ayingidde mu nsonga za Pulezidenti wa FUFA, Ying. Moses Magogo.

Mosesmagogo 703x422

Ying. Moses Magogo

Janet yalagidde Kaliisoliiso wa gavumenti (IGG) ---- n’omulung’amya wa Gavumenti ku nsonga z'amateeka --- (Solicitor General) okwetegereza ensonga munnamateeka Allan Mulindwa ze yamuwa (Janet) nga yeemulugunya ku Magogo ku by’okutunda tiketi za World Cup.

Ebbaluwa eyabaddeko omukono gwa Janet, ng’agiwandiikira Mulindwa owa (Mulindwa Association and Co. Advocates) okumutegeeza nti ebbaluwa yamutuukako nga December 17, 2019 era ensonga aziriko.

Neebaza okufaayo ku nsonga zewatuwandiikira mu bbaluwa egamba nti Ying. Moses Magogo yakaligibwa FIFA olw’okukkiriza nti yatunda tiketi ezaali eza Bannayugaanda era tasaanidde kusigala mu ntebe ya FUFA ng’afuna ne ssente za Gavumenti,” ebbaluwa ya Janet bwe yabadde esoma.

Kiddiridde, omubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana okuwaayo okwemulugunya kwe eri FIFA ng’agamba nti Magogo yeekobaana n’abantu abalala n’atunda tiketi za Bannayuganda zebalaina okugula ku beeyi entono okugenda okulaba World Cup eyali e Brazil mu 2014.

“Njagala okukutegeeza nti ensonga eno olwokuba egwa mu ofissi yange, minisitule esazeewo bweti. Nsabye omulung’amya wa Gavumenti ne Kaliisoliiso okutunula mu nsonga eyo okulambika ku nsonga za mateeka nga Gavumenti tulabe ekiddako,” ebbaluwa bwe yayongeddeko.

Gye buvuddeko, FIFA yakaliga Magogo okumala emyezi ebiri nga teyeenyigira mu nsonga za mupiira okumala emyezi ebbiri era ekibonerezo kye kirina kugwaako nga 10 December addeyo mu ofiisi. 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Index 220x290

'Mwenyigire mu by'obulimi ebivaamu...

PULEZIDENTI Museveni akunze Bannayuganda okumwegattako okulwanyisa abakulu b’amasomero abasaaawo ffiizi ez’ekimpatiira...

Plana 220x290

Bobi Wine akoze pulaani endala...

BOBI Wine bwe yavudde e Jamaica yasookedde ku mukolo gwa muganda we Fred Nyanzi era eno gye yayanjulidde pulaani...

Kcca 220x290

Ebbaluwa y’abasuubuzi ku by’oluguudo...

EBBALUWA y’abasuubuzi mu Kampala abeegattira mu KACITA gye baawandiikidde Loodi meeya Erias Lukwago ne dayirekita...

Sanyu1 220x290

Kyokka Golola Moses of Uganda!...

OMUKUBI w’ensambaggere Golola Moses of Uganda nga bwe yeeyita yajagalazza abantu bwe yalabiddwaako ng’ali n’omuwala...

Ni 220x290

Nagenda okuva mu kkomera nnasanga...

NZE Joshua Kayiira nga ndi musuubuzi mu kibuga Kampala naye nga mbeera Kawaala.