TOP

UCU Canons yeesunga kutwala kikopo

By Gerald Kikulwe

Added 22nd November 2019

UCU emaze emyaka 5 nga fayinolo ya basketball egiwulira mu bigambo. Ku luno ewera kugiwangula.

Basket 703x422

Cyrus Kiviiri owa Betway Powers (ku ddyo) ng'attunka ne David Dongo.

UCU Canons mu liigi y’eggwanga eya basketball babinuka masejjere oluvannyuma lw’okutuuka ku fayinolo mu myaka 4 nga tebagirozaako.

Ku Lwokuna, ttiimu y’abasajja eya UCU yawanduddemu Betway Powers ku wiini 3-1 (66-62, 65-58, 73-69) ne beggyako ekikwa kya myaka ena nga tebazannya fayinolo ba liigi ya basketball.

Betway Powers abaakubwa City Oilers ku fayinolo y’omwaka oguwedde beefuga ensiike eyasooka ne bagiwangula (59-56) wabula UCU yavudde mabega n’ebafulula.

Nicholas Natuhereza atendeka UCU agamba nti okukubwa ensiike eyasooka kyabasisimula era wano we baggya obuvumu okulaba nga buli luzannya babadde tebaluzannyiramu.

 “Obumalirivu n’ennyonta bye tulaze bituyambye nnyo, amazima eno fayinolo tubadde tugyetaaga kuba emyaka gibadde giyitiridde, kati twagala kikopo,” Natuhereza bwe yaweze.

Arnold Lando atendeka Betway Powers agamba nti baakoze buli ekisoboka naye omukisa tegwabadde gwabwe.

Betway Powers erina ebikopo bya liigi 5 ate UCU enoonya kisooka bw’eneeba esisinkanye anaawangula semi eyookubiri wakati wa City Oilers ne Kyambogo Worriors.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab1 220x290

Gavumenti efulumizza ebiragiro...

Gavumenti efulumizza ebiragiro ebipya ng'emizannyo gizzeemu

Kat1 220x290

‘Teri kukyusa’

‘Teri kukyusa’

Tip1 220x290

Admin FC eyagala Big League

Admin FC eyagala Big League

Byekwaso 220x290

Byekwaso w'emifumbi ateekateeka...

KAFULU wa Uganda mu muzannyo gw’okusiba emifumbi ali mu keetalo nga yeetegekera okugattibwa mu bufumbo obutukuvu...

Tip1 220x290

Omusajja anzigyako abaana

Omusajja anzigyako abaana