TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Ssimu ne Ssimbwa basisinkanye mu gwa liigi

Ssimu ne Ssimbwa basisinkanye mu gwa liigi

By Ismail Mulangwa

Added 22nd November 2019

Sizoni ewedde e Namboole URA yamegga Express ggoolo 1-0 eyateebwa Ronald Kigongo wabula omutendesi Ssimwogerere awera kulaga Ssimbwa nti Express yakyuka nnyo kw’eyo gy’amanyi.

Ura12 703x422

Ssimu (ku kkono) ne Ssimbwa.

KCCA FC-Kyetume FC, Lugogo

URA-Express, Bombo

GEORGE Ssimwogerere alaalise okukaabya batabani ba Sam Simbwa abolesezza omutindo ogw’ekiboggwe ennaku zino.

Express yasembye kumegga Tooro United (2-1), e Fort Portal ku bugenyi ate URA yagudde maliri (1-1) ne KCCA e Lugogo ku Lwokusatu.

Wabula sizoni eno Express esinga URA okuwangula emipiira nga baakazannya 14 bawanguddeko 5 ate URA yaakawangula emipiira esatu gyokka sizoni eno.

 rthur iggunddu owa xpress ku kkono ngattunka ne oachim jera ku ddyo Arthur Kiggunddu owa Express (ku kkono) ng'attunka ne Joachim Ojera (ku ddyo).

 

Omupiira guno guli Bombo, wabula URA yekyazizza oluvannyuma lwa Namboole mwe babadde bakyaliza okugalwa.

Sizoni ewedde e Namboole URA yamegga Express ggoolo 1-0 eyateebwa Ronald Kigongo era omutendesi Ssimwogerere awera kulaga Ssimbwa nti Express yakyuka nnyo kw’eyo gy’amanyi. Express yaamwenda n’obubonero 17 so nga URA yakumi n’obubonero 16.

 tiimu ya  mu katono ye mutendesi utebi Ttiimu ya KCCA mu katono ye mutendesi Mutebi.

 

Mu ngeri y’emu Mike Mutebi akyaza Kyetume FC ng’ayagala buwanguzi bwokka okusigala ng’agoba ekikopo oluvannyuma lw’okukola amaliri ne URA n’adda mu kyokusatu ku bubonero 23 mu mipiira 11.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

760c92ca9f694295837ec90b52ac134f 220x290

Ssekiboobo aziikiddwa mu kitiibwa...

Omwami wa Kabaka ow'essaza ly'e Kyaggwe eyawummula, Ssekiboobo Alex Benjamin Kigongo Kikonyogo olwaleero aziikiddwa...

A84388d55eaa4efa9fcc00052969dc53 220x290

Omuyimbi Grace Ssekamatte alwanaganye...

Omuyimbi Grace Ssekamatte omu ku ba dayirekita ba Golden band asiibuddwa okuva mu ddwaaliro gy’amaze wiiki nnamba...

Cor 220x290

Beerumirizza okusaddaaka owabbooda...

OMUTUUZE eyasaddaakiddwa ne bamusuula mu kinnya okumpi n’ekyuma ky’omugagga Ephraim Bbosa, akwasizza abantu bana...

Tra 220x290

Eddagala lya ARV’S lisobola okulwanyisa...

OLWALEERO tewali ddagala ttuufu lyazuuliddwa okuba nga lijjanjaba obulwadde bwa COVID 19 .

Tabu 220x290

Ziizino endwadde endala ezirina...

ABANTU 44 baakakasiddwa mu Uganda nga balina ssennyiga omukambwe (coronavirus) era bajjanjabwa nga n’abalala bateekeddwa...