TOP

Aba ddigi balwanira bubonero

By Ismail Mulangwa

Added 22nd November 2019

Abavuzi bajja mu nsiike eno nga bali ku lutalo lw’akulwanira bubonero bubatuusa ku buwanguzi kuba kumpi buli mutendera oguli ku kalenda abavuzi abasatu abagukulembedde buli omu asobola okuguwangula singa banne bakola ensobi.

Bike3 703x422

Abavuzi nga baabika e Garuga ku ddigi.

Ku Ssande abavuzi ba ddigi bakwabika ebifuba nga balwanira obubonero ku ngule z’eggwanga ez’enjawulo mu mpaka za Mountain Dew Motorcross Championship eza laawundi eyoomusanvu e Garunga.

Empaka zino zaatumiddwa ‘Grand Finale’ nga zigenda okuba za mutawana olwa’bavuzi okwagala okulaga buli obu eryaanyi.

Abavuzi bajja mu nsiike eno nga bali ku lutalo lw’akulwanira bubonero bubatuusa ku buwanguzi kuba kumpi buli mutendera oguli ku kalenda abavuzi abasatu abagukulembedde buli omu asobola okuguwangula singa banne bakola ensobi.

 subuga tale ne babazi abamu ku bagenda okuvuga ku sande Nsubuga, Ntale ne Mbabazi abamu ku bagenda okuvuga ku Ssande.

 

Emitendera egisinga okuvuganya ku ngule y’omwaka guno ,okuliko oguddirira abato (MX50), ogwokuna (MX85), ogwokusatu (MX125), ogw’abato (Pewee), ogwokutaano (MX65), ogw’abakyala n’ogwa bamuzeeyi (MX Vets).

 harifah ateete alon rland ne sther wangala be bamu ku balwanira ngule Sharifah Kateete, Aalon Orland ne Esther Mwangala be bamu ku balwanira ngule.

 

Abamu ku bavuzi abakulembedde buli mutendera kuliko; Ashraf Mbabazi avugira mutendera oguddirira ogw’abato (MX50 Junior) ku bubonero 321 ng’asinga ali mu kyokubiri Jonathan Katende obubonero 36, Willaim Blick mu MX 50cc alina obubonero 344 ng’asinga Pascal Kasozi ali mu kyokubiri obubonero 54, Gift Sebuguzi ali mu gwokutaano (MX85) alina ku bubonero 267 ng’asinga Kreidah Nsubuga obubonero 4.  Abalala Waleed Omar avugira mutendera ogwokuna alina obubonero 286 ng’asinga ali mu kyokubiri Stav Orland obubonero 66 bwokka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mknmu21 220x290

Ababadde batwala omulambo batuuyanye...

Abatuuze ku kyalo Nassuuti mu munisipaaali y’e Mukono baasitaanye okufuna ebiwandiiko ebitambuza omulambo gwa munnaabwe...

1bc8d9398e5f4a07a3307fdfeb1d90ad 220x290

Kasujja omukulu w'ekika ky'Engeye...

OMUTAKA Hajj Mohamood Minge Kibirige Kasujja abadde akulira ekika ky’engeye obulwadde bwa sukaali ne puleesa bimugye...

Mkncov11 220x290

Ab’e Mukono batandise ekifo aw’okukuumira...

Ab’e Mukono batandise ekifo aw’okukuumira abateeberezebwa okuba ne Coronavirus

414009d1dd2349e0bd6b4678886a42d21 220x290

Kabaka awaddeyo obukadde 100 okuyamba...

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II addukiridde Bannayuganda n’obuyambi obw’enjawulo obubalirirwa obukadde 100 ng’ensimbi...

Lop2 220x290

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye...

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye Bannayuganda okubeera abaweereza abalungi