TOP

Ekisaawe kya Paidha kiwereddwa

By Gerald Kikulwe

Added 24th November 2019

FUFA eweze ekisaawe kya Paidha, era n'etanzibwa olw'effujjo

Deoweb 703x422

Chris Kalibbala, mmemba w'olukiiko lwa FUFA olw'oku ntikko (ku kkono) ne Deo Mutabaazi

 

AKAKIIKO akakwasisa empisa mu FUFA katanzizza ttiimu za Big League bbiri olw’okusiiwuuka empisa.

Wiikendi ewedde, ekitundu kya Big Lague ekisooka lwe kyakomekekrezeddwa, era mu gimu ku mipiira, Kitara yakyazizza Doves FC. Guno tegwaggwa oluvannyuma lw’abazannyi ba Doves okugaana okudda mu kisaawe nga bagamba nti ttiyaggaasi eyali  akubiddwa mu kibuga Hoima nga poliisi egoba ababbi ba boda boda, yali  alwazizza abamu ku bazannyi baabwe.

Doves bwetyo yasaliddwaako  obubonero 3 ne ggoolo  3 ne biweebwa Kitara FC.

Omupiira omulala gwali gwa  Paidha Black Angels ne Doves All Stars ogwaggweera mu ttiyaggaasi oluvannyuma lw’abawagizi ba Paidha okukasuukirira baddifiri n’abazannyi ba Doves All Stars amayinja.

Kitara yali ekulembedde Doves ggoolo 2-0 ate Paidha ne Doves All Stars gwaggweera mu maliri (1-1).

Akakiiko  akakwasisa empisa nga kakulembeddwa ssentebe Deo Mutabaazi, kaasingisizza  Paidha omusango, ne batanzibwa emitwalo 50, ze balina okusasula obutasukka wiiki bbiri.

Ekisaawe kyabwe (Bar Okoro Stadium), nakyo kyawereddwa obutaddamu kukyaza mupiira.

“Amateeka galagira  ttiimu y’awaka okuwa abagenyi obukuumi naye ate bwe yeenyigira mu kumenya amateeka etanzibwa, ” Mutabaazi bwe yategeezezza.

Paidha yaakutaano mu kibinja kya Elgon n’obubonero 11 ate Doves FC yeesembye mu kibinja kya Rwenzori  ku 4.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nrm1 220x290

Okulonda kwa ssentebe wa NRM e...

Okulonda kwa ssentebe wa NRM e Mityana kutandikidde mu ggiya

Kalendeweds1 220x290

Obunkenke e Namirembe nga Reverand...

Abooluganda n’emikwano gya bagole ababadde mu lutikko baasirikiridde buli omu nga bwatunuulira munne okutuusa Rev....

Saba 220x290

‘Muggya wange apangisizza abasajja...

AMALOBOOZI g’enkoko ezikookolima ge gaamuyambye okwewalula okuva mu kibira kya Mabira wakati okutuuka ku bantu...

Nakalembe1 220x290

‘Muggya wange apangisizza abasajja...

AMALOBOOZI g’enkoko ezikookolima ge gaamuyambye okwewalula okuva mu kibira kya Mabira wakati okutuuka ku bantu...

Sebulime1 220x290

Famire ya Ssebulime ekukkuluma...

FAMIRE y’omugenzi Ronald Ssebulime eyakubwa poliisi amasasi ng’ateeberezebwa okuba mu lukwe lw’okwagala okutta...