TOP
  • Home
  • Ebikonde
  • Omumerika Wilder yeddizza omusipi gw'ebikonde

Omumerika Wilder yeddizza omusipi gw'ebikonde

By Musasi wa Bukedde

Added 24th November 2019

Wilder alwana kweddiza musipi mu buzito obw'enjawulo mulundi gwa 11.

Wilder 703x422

Ortiz (ku ddyo) ng'atwalira Wilder ekikonde mu lulwana olwabadde mu Amerika.

OMUMERIKA Deontay wilder, 34, alaze ensi ali mu luse lwa bakafulu mu bikonde mu buzito bwa heavy weight bwe yaggunze Luis Ortiz eng’uumi tonziriranga mu laawundi eyoomusanvu.

Wilder yeddizza omusipi gwa WBC mu lulwana olwabadde mu MGM Grand Arena mu kibuga Las Vegas ekya Amerika mu kiro ekikeesezza leero.

Guno mulundi gwa 10 nga Wilder yeddiza omusipi era yenkanye likodi ya Muhamad Ali (kati omugenzi) gye yassaawo wakati wa 1974-1978.

Abaggunzi b’ebikonde bana be baakeddiza emisipi emirundi esoba mu 10 era kino Wilder ky’alwana okutuukako.

Wadde nga Ortiz yakize Wilder mu kukasuka eng’uumi, obugumiikiriza (Wilder) bwe yalaze bwamuyambye okutuuka ku buwanguzi.

Wilder alinze kwang’anga anaawangula ku Andy Ruiz Anthony Joshua mu lulwana olunaabeera mu kibuga Riyadh ekya Saudi Arabia.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Seb1 220x290

Beefudde abasawo ne bamufera obukadde...

Beefudde abasawo ne bamufera obukadde 15

Gab1 220x290

Omutaka Gabunga awummuzza basajja...

Omutaka Gabunga awummuzza basajja be

Pip1 220x290

Aba People Power bongedde okwenyweza...

Aba People Power bongedde okwenyweza

Lat1 220x290

Enkungaana za Bobi Wine zirinnyiddwamu...

Enkungaana za Bobi Wine zirinnyiddwamu eggere

Ch16 220x290

Ebyaviiriddeko Rema akuding'ana...

Ebyaviiriddeko Rema akuding'ana ne Evans