TOP
  • Home
  • Rally
  • Sentamu ne Van Pee beerisizza enfuufu mu ddigi

Sentamu ne Van Pee beerisizza enfuufu mu ddigi

By Ismail Mulangwa

Added 25th November 2019

Fortune Sentamu ne kapiteeni wa ttiimu y'eggwanga eya ddigi, Maxime Van Pee beeraze ttaaci mu mpaka za ddigi

Garugaweb 703x422

Fortune Sentamu ng'abuusizza ddigi mu bbanga

ENDUULU yabuutikidde ekisaawe ky’e Garuga nga Fortune Sentamu ayiribya kapiteeni wa ttiimu y’eggwanga, Maxim Van Pee mu mpaka ezaggaddewo kalenda ya ddigi eza Mountain Dew Motorcross Championship laawuundi eyoomusanvu.

Baakwataganye mu lukontana olwokusatu, oluvannyuma lwa Sentamu okumalako enkontana ez’omutendera gwe (MX125)  ne yeegatta ku mutendera ogwa bakafulu, okwongera okussaawo okuvuganya.

 kuva ku kkono ye ascal asoziiguel atende ne illiam lick Okuva ku kkono ye Pascal Kasozi,Miguel Katende ne William Blick

 

Sentamu olwegasse ku mutendera guno, abawagizi be ne bawaga nga bagamba nti obwedda Van Pee ayisa mu jjejje kkalu n’abavuzi abakadde nga balindiridde okulaba we babbinkana.

Obwedda Sentamu akola obusolosolo mu bbanga n’atuusa n’okubuusa ddigi mu miti saako okukuba Van Pee amataala, ekintu ekyaleetedde abawagizi be okwebuuza bulijjo gyakwese omutindo guno.

 sabella lick kyampiyoni wa bawala ngali ne bigail wangala Isabella Blick kyampiyoni wa bawala ng'ali ne Abigail Mwangala

 

Abawanguzi okuva mu mitendera egy’enjawulo kuliko; Ashrah Mbabazi Jr (MX50Jr), Miguel Katende (MX50cc), Gift Ssebuguzi (MX65cc), Waleed Ali Omar (MX85cc), Isabella Blick (65cc), Aminah Zawedde (MX85cc), Wazir Ali Omar (125), Sharifa Kateete (125) ne Maxim Van Pee (MX1).

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kcca 220x290

Bobi Wine akoze pulaani endala...

BOBI Wine bwe yavudde e Jamaica yasookedde ku mukolo gwa muganda we Fred Nyanzi era eno gye yayanjulidde pulaani...

Kcca 220x290

Ebbaluwa y’abasuubuzi ku by’oluguudo...

EBBALUWA y’abasuubuzi mu Kampala abeegattira mu KACITA gye baawandiikidde Loodi meeya Erias Lukwago ne dayirekita...

Sanyu1 220x290

Kyokka Golola Moses of Uganda!...

OMUKUBI w’ensambaggere Golola Moses of Uganda nga bwe yeeyita yajagalazza abantu bwe yalabiddwaako ng’ali n’omuwala...

Ni 220x290

Nagenda okuva mu kkomera nnasanga...

NZE Joshua Kayiira nga ndi musuubuzi mu kibuga Kampala naye nga mbeera Kawaala.

Pata 220x290

Mukyala wange tamanyi kulabirira...

MUKYALA wange tamanyi kulabirira baana be era omukozi y’alabirira. Omukozi bw’agenda, awaka tubeera bacaafu, abaana...