TOP

Aguero asubiddwa ogwa ManU mu Premier.

By Musasi wa Bukedde

Added 25th November 2019

Ekizibu ekisinze okutawaanya Man City sizoni eno bwe buvune nga bassita okuli; Laporte, Sane n'abalala bonna balwadde.

2016mancityagueroinjured 703x422

Aguero ng'ali mu bulumi olw'obuvune.

ABAWAGIZI ba ManU, bafunye akaseko ku matama oluvannyuma lw’okukitegeera nti omuteebi wa Man City, Sergio Aguero si waakuzannya nsiike yaabwe nabo bwe banaaba battunka mu Premier.

Aguero, yafunye obuvune bwe baabadde bawangula Chelsea ggoolo 2-1 mu Premier ku Lwomukaaga era oluvannyuma lw’omupiira, Pep Guardiola yategeezezza nti omuteebi we ono waakusubwa emipiira egy’enjawulo.

Aguero yafunye obuvune mu katumbugulu era we banaazannyira ManU mu Premier nga December 7, ajja kuba tannassuuka.

Omuteebi ono, tasuubirwa kuzannya gwa Shakhtar mu Champions League ssaako ogwa Newcastle ne Burnley mu Premier.

Ono yeegasse ku Ayemric Laporte, Leroy Sane n’abazannyi abalala bonna abakyali ku miggo olw’obuvune.

Man City eri mu kyakusatu mu Premier ku bubonero 28 nga Liverpool ekulembedde ebasinga obubonero mwenda.

Aguero y’akulembedde abateebi ba Man City nga yaakabateebera ggoolo mwenda.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nrm1 220x290

Okulonda kwa ssentebe wa NRM e...

Okulonda kwa ssentebe wa NRM e Mityana kutandikidde mu ggiya

Kalendeweds1 220x290

Obunkenke e Namirembe nga Reverand...

Abooluganda n’emikwano gya bagole ababadde mu lutikko baasirikiridde buli omu nga bwatunuulira munne okutuusa Rev....

Saba 220x290

‘Muggya wange apangisizza abasajja...

AMALOBOOZI g’enkoko ezikookolima ge gaamuyambye okwewalula okuva mu kibira kya Mabira wakati okutuuka ku bantu...

Nakalembe1 220x290

‘Muggya wange apangisizza abasajja...

AMALOBOOZI g’enkoko ezikookolima ge gaamuyambye okwewalula okuva mu kibira kya Mabira wakati okutuuka ku bantu...

Sebulime1 220x290

Famire ya Ssebulime ekukkuluma...

FAMIRE y’omugenzi Ronald Ssebulime eyakubwa poliisi amasasi ng’ateeberezebwa okuba mu lukwe lw’okwagala okutta...