TOP

Cranes ya CECAFA eyitiddwa

By Stephen Mayamba

Added 26th November 2019

Abazannyi abasuubirwa okwetaba mu mpaka za CECAFA, bayitiddwa okutandika okwetegeka

Ugandawebnew 703x422

Abazannyi ba Cranes nga bajaganyiza ggoolo gye buvuddeko

 

OMUTENDESI wa Cranes, Johnathan Mckinstry,  ayise abazannyi 30, okutandika okwetegekera empaka za ‘CECAFA Senior Challenge Cup’, ezitandika mu wiiki bbiri. Okutendekebwa kutandika ku Lwakusatu, e Lugogo.

Mckinstry ayagala okukozesa empaka zino okwongera okwetegereza abazannyi ba ttiimu ya CHAN eyayitamu okuzannya ez’akamalirizo ezigenda okubeera e Cameroon mu April w’omwaka ogujja, ng’eri mu mitambo gy’omumyukawe, Abdallah Mubiru.

Mu bazannyi abaayitiddwa temulimu pulofeesono, ekyongera okukakasa nti agenda kukozesa ttiimu ya CHAN okugezaako okunyweza kikodi ya Uganda ey’ebikopo ebingi ebya CECAFA, ng’agiwangulira ekikopo eky’e 15.

Uganda eri mu kibinja A ne Burundi, Ethiopia ne Eritrea. Mu kibinja B mulimu  Sudan, South Sudan, Somalia ne DR Congo, abazze nga ttiimu eng’enyi. Kenya, Tanzania, Zanzibar ne Djibouti ziri mu kibinja C.

Abazannyi abaayitiddwa;

Abakwasi ba ggoolo; Charles Lukwago, James Alitho, Joel Mutakubwa, Saidi Keni ne Jack Komakech.

Abalala kuliko; Paul Willa, Ashraf Mandela, Mustapha Kizza, Disan Galiwango, John Revita, Samuel Kato, Halid Lwaliwa, Mustafa Mujuzi, Paul Mbowa, Nicholas Kasozi, Shafik Kagimu, Hassan Senyonjo, Muzamir Mutyaba, Karim Watambala, Krizestom Ntambi, Allan Okello, Bright Anukani, Ben Ocen, Joachim Ojera, Vianney Sekajjugo, Fahad Bayo, Joel Madondo, Allan Kayiwa, Edrisa Lubega ne Stephen Mukwala.

Uganda, eyasemba okutegeka empaka zino mu 2012, y’etegese ez’omulundi guno ez’okubaawo wakati wa December 7-19.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ev1 220x290

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa...

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa

Mayinjangaayimba 220x290

Mayinja yeeganye eby'okuwagira...

Yayogedde ku nkolagana ye n’aba NRM n’agamba nti ali ku mulamwa gwa kubaperereza kwegatta ku kisinde kya People...

Wanga 220x290

Muwala wa kkansala owa S5 bamutuze...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Kisowera mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono mu kiro ekikeesezza olwa...

Malawo 220x290

Ab’ewa Kisekka batabukidde Gavt....

ABASUUBUZI b’ekiwayi kya ssentebe Robert Kasolo ewa Kisekka bawadde gavumenti obukwakkulizo ku kabineeti kye yayisa...

Load 220x290

Aba LDU bakubye babiri amasasi...

ABASIRIKALE ba LDU bazzeemu okukuba abantu babiri amasasi ng’entabwe evudde ku bbiina ly’abantu abaabadde baagala...