TOP

Arsenal eyongedde ggiya mu kunoonya omutendesi

By Musasi wa Bukedde

Added 26th November 2019

Ebivumo n’okung’oola, abawagizi ba Arsenal bye baayolekezza omutendesi Unai Emery n’abazannyi nga balemaganye ne Southampton (2-2) ku Lwomukaaga, byandivaamu ebibala.

Emery25 703x422

Unai Emery

Kigambibwa nti boodi ya Arsenal eyongedde okwetemamu nga bammemba abasinga bagamba nti Emery alemeddwa okulinnyisa omutindo gwa ttiimu./

Bano nti baagala agobwe kyokka ng’abamu basemba kikolwe mbagirawo ate abalala nga baagala amaleko sizoni.

Batunuulidde abatendesi 3 okumusikira okuli, Maximilliano Allegri, eyagobwa mu Juventus, Mikel Arteta, amyuka Pep Guardiola mu Man City, ne Mauricio Pochettino eyagobeddwa mu Spurs.

Ku bonsatule, Pochettino alina emikisa mitono olw’akakwate ke ne Spurs, eterima kambugu na Arsenal.

Badayirekita abaagala Emery agoberwewo bawa ensonga nti omutendesi omuggya ayinza okukyusizaawo ttiimu n’emalira mu ‘Top 4’ ate abawagira Emery okumalako sizoni bagamba nti omutendesi addako asaana aweebwe obudde okwetegereza abazannyi b’ayagala olwo sizoni etandike nga talina kye yeekwasa.

Arsenal yaamusanvu mu Premier ng’erina obubonero 18 mu mipiira 13. Yaakawangula emipiira 4 kyokka nga Newcastle yokka gye yaakakubira ku bugenyi. Emaze emipiira 5 nga tegoba mu Premier.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ev1 220x290

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa...

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa

Mayinjangaayimba 220x290

Mayinja yeeganye eby'okuwagira...

Yayogedde ku nkolagana ye n’aba NRM n’agamba nti ali ku mulamwa gwa kubaperereza kwegatta ku kisinde kya People...

Wanga 220x290

Muwala wa kkansala owa S5 bamutuze...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Kisowera mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono mu kiro ekikeesezza olwa...

Malawo 220x290

Ab’ewa Kisekka batabukidde Gavt....

ABASUUBUZI b’ekiwayi kya ssentebe Robert Kasolo ewa Kisekka bawadde gavumenti obukwakkulizo ku kabineeti kye yayisa...

Load 220x290

Aba LDU bakubye babiri amasasi...

ABASIRIKALE ba LDU bazzeemu okukuba abantu babiri amasasi ng’entabwe evudde ku bbiina ly’abantu abaabadde baagala...