TOP

Abawagizi ba ManU baagala Ed Woodward agobwe

By Musasi wa Bukedde

Added 26th November 2019

Akulira emirimu mu ManU, Ed Woodward ayongedde okutabukirwa abawagizi ba ManU abasabye agobwe.

Fergiegillwoodward1 703x422

Kino kyaddiridde Sheffield United, eyaakadda mu Premier okubasuula amaliri (3-3) ku Ssande ne basubwa okugenda mu kifo ekyokutaano mu Premier.

Ekyasinze okunyiiza abawagizi ye Sheffield okukulembera ne ggoolo bbiri ne bagiva emabega okukulembera ggoolo 3-2 wabula n’ebateeba ey’ekyenkanyi mu ddakiika ezongerwamu.

Ku mupiira guno, Ed Woodward eyatudde ne Sir Alex Ferguson wamu ne David Gill, gwe yaddira mu bigere, baalabiddwa nga balinga abakaayana abawagizi kye baatapuse nti enkaayana yabadde ku bazannyi Fred, Perreira ne Phil Jones abaasinze okuzannya obubi.

Baagenze ku mikutu gya Social Media ne basaba Ed Woodward alekulire nti kuba yagula abazannyi ‘abatamanyi mupiira’ ne bagattako nti, “Etteeka erisooka mu ManU tolina kukola kimma Fergie ssanyu.”

ManU yaamunaana mu Premier eya ttiimu 20 ng’erina obubonero 17 mu mipiira 13.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ev1 220x290

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa...

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa

Mayinjangaayimba 220x290

Mayinja yeeganye eby'okuwagira...

Yayogedde ku nkolagana ye n’aba NRM n’agamba nti ali ku mulamwa gwa kubaperereza kwegatta ku kisinde kya People...

Wanga 220x290

Muwala wa kkansala owa S5 bamutuze...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Kisowera mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono mu kiro ekikeesezza olwa...

Malawo 220x290

Ab’ewa Kisekka batabukidde Gavt....

ABASUUBUZI b’ekiwayi kya ssentebe Robert Kasolo ewa Kisekka bawadde gavumenti obukwakkulizo ku kabineeti kye yayisa...

Load 220x290

Aba LDU bakubye babiri amasasi...

ABASIRIKALE ba LDU bazzeemu okukuba abantu babiri amasasi ng’entabwe evudde ku bbiina ly’abantu abaabadde baagala...