TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Omutendesi w'eyabawala amatidde omutindo

Omutendesi w'eyabawala amatidde omutindo

By Stephen Mayamba

Added 26th November 2019

Omutendesi wa Crested Cranes mumativu n'omutindo ogwayoleseddwa ttiimuye mu za CECAFA Women Championship

Crestedweb 703x422

Abazannyi ba Crested Cranes. Atudde ku kkono ye Farida Bulega

CECAFA Women Championship

Fayinolo

Tanzania 0-2 Kenya

Ekyokusatu

Burundi 0-2 Uganda

FARIDA Bulega, omutendesi wa Crested Cranes, ttiimu y’eggwanga ey’omupiira ey’abakazi agambye nti wadde abazannyi be baalemeddwa okusitukira mu kikopo kya CECAFA, mumativu n’omuitndo gwe baayolesezza.

Crested Cranes emaze wiiki nnamba mu kibuga  Dar es Salaam mu Tanzani ng’evuganya mu’ CECAFA Women Championship’  era yamalidde mu kyakusatu  bwe yakubye Burundi ggoolo 2-0.

Empaka zaawanguddwa Kenya eyamezze abategesi aba Tanzania ggoolo 2-0, n’egyesasuza okugikubira ku fayinolo ya 2016.

“Ekiruubirirwa kyaffe kyali kya kuwangula mpaka zino naye ne kitasoboka.  Mu kifo ky’okwekubagiza tugenda kuzimbira  ku bumanyirivu bwe tufunye n’okwongera okuzimba abazannyi abato abakyali abapya ku ttiimu, tulabe nga mu mpaka endala ze tuddamu okwetabamu tukola bulungi,’ Bulega bwe yategeezezza.

Tanzania be babadde ba kyampiyoni b’empaka zino enfunda bbiri eziyise (2016 ne 2018) , ate guno  gwe mulundi gwa Kenya ogwasoose okuziwangula.

Amawanga munaana ge geetabye mu mpaka z’omwaka guno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Seb1 220x290

Beefudde abasawo ne bamufera obukadde...

Beefudde abasawo ne bamufera obukadde 15

Gab1 220x290

Omutaka Gabunga awummuzza basajja...

Omutaka Gabunga awummuzza basajja be

Pip1 220x290

Aba People Power bongedde okwenyweza...

Aba People Power bongedde okwenyweza

Lat1 220x290

Enkungaana za Bobi Wine zirinnyiddwamu...

Enkungaana za Bobi Wine zirinnyiddwamu eggere

Ch16 220x290

Ebyaviiriddeko Rema akuding'ana...

Ebyaviiriddeko Rema akuding'ana ne Evans