TOP
  • Home
  • Ebikonde
  • Shafic Kiwanuka akoze ekyafaayo: Amezze Omuzimbabwe n’asitukira mu musipi gwa Afrika

Shafic Kiwanuka akoze ekyafaayo: Amezze Omuzimbabwe n’asitukira mu musipi gwa Afrika

By Musasi wa Bukedde

Added 30th November 2019

OMUGGUNZI w’eng’uumi Shafic Kiwanuka yayingidde ebyafaayo nga Munnayuganda asoose okusitukira mu musipi gwa Africa mu buzito bwa ‘heavy’.

Kiwa01 703x422

Kiwanuka ng'awumiza Dube . Ebifaananyi byonna bya Fred Kisekka

OMUGGUNZI w’eng’uumi Shafic Kiwanuka ayingidde ebyafaayo nga Munnayuganda asoose okusitukira mu musipi gwa Africa mu buzito bwa ‘heavy’.

Kiwanuka 25, yaggunze Omuzimbabwe Thamsanq Dube mu lulwana olwabadde ku International University of East Africa e Kansanga n’awangula omusipi gwa WBF Africa Heavy Weight Title.

iwanuka ngawagaKiwanuka ng'awaga

 

iwanuka ngalumye ku musipi gwe yawanguddeKiwanuka ng’alumye ku musipi gwe yawangudde.

 

Kiwanuka ye Munnayuganda asoose okuwangula omusipi ogusukka eddaala lya Uganda mu buzito bwa Heavy.

Bannayuganda abazze bawangula emisipi gya Afrika oba ogy’ensi yonna babadde bawangula mu buzito bwa wansi.

 

Bano kuliko; Godfrey Nyakana, Ayuba Kalule, John ‘The Beast’ Mugabi, Kassim Ouma, Justin Juuko, Conelius Boza n’abalala.

Abawagizi ba Kiwanuka abaakulembeddwa minisita wa Tekinologiya n’ebyempuliziganya, Frank Tumwebaze eyakiiridde minisita w’Ebyenjigiriza n’emizannyo Janet Museveni.

Tumwebaze yakuutidde abazadde obutatuulira ttalanta z’abaana baabwe n’ategeeza nti Gavumenti yaakwongera okuwagira emizannyo naddala ginnansangwa. Yawadde abategesi 2,000,000/-.

 Dube ne Kiwanuka nga beetwalira eng’uumi.

 

Mu abalala abaabaddewo ye mutendesi wa Cranes, Johnathan McKinstry, AIGP Andrew Sorowen akulira emizannyo mu poliisi, omuvuzi wa mmotoka Hassan Alwi, Godfrey Nyakana, omuyimbi Ragga Dee n’abalala.

Minisita Frank Tumwebaze ng'ayogerako eri abeetabye ku nguuni eno

Kiwanuka yategeezezza kino kikyali kituuza waakwongera okuwangula emisipi kutuusa lwa lw’anaasitukira mu gw’ensi yonna.

 mu ku mbooko ezaalabye olulwana lwa iwanuka Emu ku mbooko ezaalabye olulwana lwa Kiwanuka.

 

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Troubled 220x290

Oulanya agugumbudde abazadde abataweerera...

Omumyuka wa sipiika wa Palamenti, Jacob Oulanya agugumbudde abazadde abeesuuliddeyo ogwa nnaggamba okuweerera abaana...

Young 220x290

Abalokole batadde Gavt. ku nninga...

ABASUMBA b’abalokole batadde gavumenti ku nninga okubawa layisinsi ezibakkiriza okugatta abagole wabweru w’ekkanisa....

Kolayo 220x290

Bayisizza bajeti ya bukadde 200...

ABASUUBUZI mu Kikuubo ne Nabugabo bakungubagidde maama w’omugagga Moses Kayongo nnannnyini Mt. Zion Hotel esangibwa...

Kola 220x290

Agambibwa okubba kasooli bamukubye...

ABASERIKALE ba LDU baliko omuvubuuka gwe bakutte lubona mu lusuku ly’omutuuze ng’abba kasooli ne bamukuba amasasi...

Okutulugunya abakyala kweyongede...

Joan Nakilanda nga ono Alina emyaka 21 yafumbirwa nga alina omyeka 17 era nazala omwana we asoka neba. Oluvanyuma...