TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Ljungberg mumativu okutuusa Arsenal mu bana abasooka

Ljungberg mumativu okutuusa Arsenal mu bana abasooka

By Musasi wa Bukedde

Added 2nd December 2019

Arsenal yaakamala emipiira mukaaga egiddiring'ana nga tewangula ekyaviiriddeko omutendesi Unai Emery okukwatibwa ku nkoona.

2019arsenalvnorwich18 703x422

Tom Trybull owa Norwich (ku ddyo) ng'alemesa Aubameyang okuyisaawo omupiira.

OMUTENDESI wa Arsenal ow’ekiseera, Freddie Ljungberg agambye nti ttiimu ye ekyasobolera ddala okumalira mu bifo ebina ebisooka.

Wadde nga Arsenal yalemaganye ne Norwich ggoolo 2-2, Ljungberga agamba nti balina obusobozi obuwangula emipiira egibulayo bamalire mu bifo ebina ebisooka.

Omupiira gwa Norwich gwawezezza omupiira ogwomukaaga oguddiring’ana Arsenal gw’emaze nga tewangula era guno gwe mulundi gw’ekyasinze okukola obubi okuva mu 1975.

 jungberg omutendesi wa rsenal Ljungberg, omutendesi wa Arsenal.

 

Arsenal eri mu kaweefube wa kunoonya musika wa Unai Emery wa nkalakkalira era abakulu bali mu kutuula bufoofofo okulaba nga bafuna omutendesi omulungi anazza ttiimu eno ku ntikko.

Pierre Aubameyang yateebye ggoolo bbiri kyokka tezaabayambye kuwangula mupiira gwa Norwich.

Bukya sizoni eno etandika, Arsenal yaakawangula omupiira gumu gwokka ku bugenyi ekimu ku biviiriddeko omutindo gwayo okukka.

Ku Lwokusatu, yaakukyaza Brighton mu kaweefube gw’eriko okulaba ng’erwana okudda mu bana abasooka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Whatsappimage20191206at004506 220x290

Omunigeria Wizkid afuukudde abadigize...

Abantu beeyiye ku Airstrip e Kololo mu kivvulu ky'Omunigeria Wizkid, mu kivvulu ekyatuumiddwa #DirtyDecember Ba...

Nicho 220x290

Amagye gasazeeko ffaamu ya taata...

AMAGYE ne poliisi basazeeko ffaamu ya taata wa Bobi Wine omugenzi Wellington Jackson Ssentamu e Gomba.

Sevo 220x290

Museveni ayongedde ggiya mu kulwanyisa...

PULEZIDENTI MUSEVENI ayongedde ggiya mu kulwanyisa abali b’enguzi era n’awa amagezi abawa abantu emirimu mu bitongole...

Ppp2 220x290

Abantu 20 be bafa obulwadde bw'akafuba...

Bebe Cool akoowoodde Bannayuganda okumwegattako mu kulwanyisa obulwadde bw’akafuba emu ku ndwadde zi nnamutta mu...

Ucumussanyu9214 220x290

UCU Lady Canons ewangudde n'edda...

JKL Dolphins yeetaaga kuwangula nzannya bbiri ku UCU Lady Canons okusitukira mu kikopo kya sizoni eno.